Isaaya 41:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Ani eyakola kino ng’ayita emirembe gy’abantu
okuva ku lubereberye?
Nze Mukama ow’olubereberye
era ow’enkomerero, nze wuuyo.”
Isaaya 45:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Nze Mukama, tewali mulala.
Tewali katonda mulala wabula nze.
Ndikuwa amaanyi
wadde nga tonzisaako mwoyo,
1 Samwiri 2:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Mukama Katonda y’aleeta okufa, era y’awa obulamu;
atwala emagombe ate n’azuukiza.
Zabbuli 68:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Katonda waffe ye Katonda alokola;
era tuddukira eri Mukama Katonda okuwona okufa.
Koseya 6:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Obujeemu bwa Isirayiri
6 (A)“Mujje, tudde eri Mukama.
Atutaaguddetaagudde,
naye alituwonya;
atuleeseeko ebiwundu,
naye ebiwundu alibinyiga.
Zabbuli 50:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)“Ggwe eyeerabira Katonda, ebyo bisseeko omwoyo,
nneme kukuyuzaayuza nga tewali na wa kukuwonya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.