Add parallel Print Page Options

28 (A)Ayogera ku Kuulo nti, ‘Musumba wange
    era alituukiriza bye njagala byonna.’
Alyogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kizimbibwe,’
    ne ku yeekaalu nti, ‘Emisingi gyayo gizimbibwe.’ ”

Read full chapter

45 (A)“Bw’ati Mukama bw’agamba Kuulo gwe yafukako amafuta,
    oyo gwe mpadde amaanyi mu mukono gwe ogwa ddyo
okujeemulula amawanga mu maaso ge
    era n’okwambula bakabaka ebyokulwanyisa byabwe,
okuggulawo enzigi ezimuli mu maaso,
    emiryango eminene gireme kuggalwawo.

Read full chapter

13 (A)Ndiyimusa Kuulo mu butuukirivu
    era nditereeza amakubo ge gonna.
Alizimba ekibuga kyange
    n’asumulula abantu bange abaawaŋŋangusibwa;
naye si lwa mpeera oba ekirabo,”
    bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

Read full chapter

12 (A)“Naye emyaka ensanvu bwe giriggwako, ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’eggwanga lye, ensi ya Babulooni olw’ekibi kyabwe, ngifuule matongo emirembe gyonna,” bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

10 (A)Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Emyaka nsanvu nga giweddeko e Babulooni, ndijja gye muli ntuukirize ekisuubizo kyange eky’ekisa mbakomyewo mu kifo kino.

Read full chapter

21 (A)Awo Danyeri n’aba muweereza mukulu mu bwakabaka okutuusa ku mwaka ogw’olubereberye ogwa Kabaka Kuulo.

Read full chapter

28 (A)Awo Danyeri n’aba n’omukisa mu mirembe gya Daliyo era n’awangaala okutuusa ne mu mirembe gya Kuulo Omuperuzi.

Read full chapter

Danyeri Alaba Malayika mu Kwolesebwa

10 (A)Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka w’e Buperusi, Danyeri eyayitibwanga Berutesazza n’afuna okwolesebwa okulala. Ekigambo kye yafuna kyali kya mazima nga kyogera ku lutalo olw’amaanyi. N’ategeera obubaka obwamuweebwa mu kwolesebwa okwo.

Read full chapter