Add parallel Print Page Options

(A)Eriyo abaggya zaabu ennyingi mu nsawo zaabwe
    ne bapima ne ffeeza ku minzaani.
Olwo ne bapangisa omuweesi wa zaabu n’agiweesaamu katonda waabwe,
    ne bagwa wansi ne basinza.

Read full chapter

(A)Bagunyiriza ne ffeeza ne zaabu,
    bagukomerera n’enninga n’ennyondo
    guleme okunyeenyanyeenya.

Read full chapter

17 (A)Ekitundu ekisigaddewo akikolamu katonda,
    ekifaananyi ekikole n’emikono,
era n’akivuunamira n’akisinza n’akyegayirira n’agamba nti,
    “Mponya, kubanga ggwe katonda wange.”
18 (B)Tebaliiko kye bamanyi so tebaliiko kye bategeera,
    amaaso gaabwe gazibye n’okuyinza ne batayinza kulaba,
    n’okutegeera ne batayinza kutegeera.
19 (C)Tewali n’omu ayimirira n’alowooza,
    tewali n’omu amanyi wadde ategeera okugamba nti,
“Ekimu ekyokubiri ekyakwo nkyokezza mu muliro,
    era ne nfumba n’obugaati ku manda gaakyo,
    njokezzaako n’ennyama n’engirya.
Ekitundu kyakyo kifuuse eky’omuzizo?
    Nvuunamire ekisiki ky’omuti?”
20 (D)Alya vvu. Omutima gwe gumulimbalimba,
    tasobola kwerokola wadde okwebuuza nti,
    “Kino ekiri mu mukono gwange ogwa ddyo si bulimba?”

Read full chapter