Add parallel Print Page Options

14 Naye Sayuuni n’ayogera nti, “Mukama andese,
    era Mukama wange anneerabidde.”

15 (A)“Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa,
    n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe?
Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira
    naye nze sirikwerabira.
16 (B)Laba, nkuwandiise mu bibatu by’engalo zange;
    ebisenge byo binaabeeranga mu maaso gange.
17 (C)Abaana bo banguwa okujja era abakuzimba balisukkuluma ku bakuzikiriza
    era abo abaakuzikirizanga balikuvaamu bagende.
18 (D)Yimusa amaaso go otunule enjuuyi zonna olabe.
    Abantu bo beekuŋŋaanya bajja gy’oli.
Nga bwe ndi Katonda omulamu,
    balikwesiimisa, obambale ng’ebikomo n’emidaali ebyebbeeyi
    ng’omugole bw’ayambala malidaadi,” bw’ayogera Mukama.

19 (E)“Wadde nga wazika n’olekebwa awo ensi yo n’ezikirizibwa,
    kaakano ojja kubeera mufunda nga toja mu bantu bo,
era abo abakuteganya
    banaakubeeranga wala.
20 (F)Abantu bo abazaalibwa mu buwaŋŋanguse
    lumu balyogera ng’owulira nti,
‘Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala;
    tuwe ekifo aw’okubeera.’
21 (G)N’olyoka oyogera mu mutima gwo nti,
    ‘Ani eyanzaalira abaana bano bonna?
Nafiirwa abaana bange bonna ng’ate ndi mugumba.
    Nawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka.
    Bano baava ludda wa?
Nasigala nzekka,
    naye ate bano, baava wa?’ ”

Read full chapter

Ekibi Kyawukanya Isirayiri ku Katonda

50 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ebbaluwa egoba nnyammwe, kwe namugobera eri ludda wa?
    Oba nabatunda eri ani?
Mwatundibwa lwa bikolwa byammwe ebibi;
    olw’obutali butuukirivu bwammwe nnyammwe kyeyava agobwa.
(B)Lwaki bwe najja tewaali muntu n’omu?
    Bwe nakoowoola lwaki tewaali muntu n’omu annyanukula?
Omukono gwange gwali mumpi nnyo okukununula?
    Mbuliddwa amaanyi agakununula?
Laba nnyinza okwogera obwogezi ennyanja n’ekalira,
    emigga ne ngifuula eddungu,
ebyennyanja byamu ne bifa ennyonta,
    ne bivunda olw’okubulwa amazzi.

Read full chapter

(A)Ataliddayo kuyitibwa nti, Eyalekebwa,
    ensi yo teriddamu kuyitibwa nti, Yazika.
Naye oliyitibwa nti, Gwe nsanyukira,
    n’ensi yo eyitibwe nti, Eyafumbirwa.
Kubanga Mukama akusanyukira
    era ensi yo eribeera ng’omukazi afumbiddwa.

Read full chapter

12 (A)Era baliyitibwa Abantu Abatukuvu,
    Abanunule ba Mukama,
ne Yerusaalemi kiyitibwe, Ekibuga Mukama ky’ayagala,
    Ekibuga Ekitakyali ttayo.

Read full chapter