Add parallel Print Page Options

24 (A)Kale ng’olulimi lw’omuliro bwe lwokya ekisagazi ekikalu,
    era ng’omuddo omukalu bwe guggweerera mu muliro,
bwe gityo n’emirandira gyabwe bwe girivunda,
    era n’ebimuli byabwe bifuumuuke ng’enfuufu;
kubanga baajeemera etteeka lya Mukama Katonda ow’Eggye,
    era ne banyooma ekigambo ky’Omutukuvu wa Isirayiri.

Read full chapter

10 (A)Kubanga baliba ng’amaggwa agakwataganye,
    era nga batamidde,
    balyoke bookebwe omuliro ng’ekisambu ekikalu.

Read full chapter

17 (A)Ekitangaala kya Isirayiri kirifuuka omuliro,
    n’Omutukuvu waabwe abeere olulimi lw’omuliro,
mu lunaku lumu kyokye kimalirewo ddala
    amaggwa ge n’emyeramannyo gye.

Read full chapter

30 (A)Abalwanyi ba Babulooni balekedde awo okulwana;
    basigadde mu bigo byabwe.
Baweddemu amaanyi;
    bafuuse nga bakazi.
Ebifo bye mw’abeera byokeddwa omuliro;
    emitayimbwa gy’oku nzigi ze gimenyeddwa.

Read full chapter

32 (A)entindo z’emigga baziwambye,
    ensenyi ziyidde omuliro,
    n’abaserikale batidde.”

Read full chapter

58 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Bbugwe wa Babulooni omunene alisendebwa
    era n’emiryango gye emiwanvu gyokebwe;
abantu beetawanyiza bwerere nga bafuba,
    okutawaana kw’eggwanga kuliba nku za muliro.”

Read full chapter