Add parallel Print Page Options

25 (A)Noolwekyo obusungu bwa Mukama Katonda bubuubuukira ku bantu be,
    n’agolola omukono gwe n’abasanjaga,
ensozi ne zikankana
    era n’emirambo gyabwe ne gibeera ng’ebisasiro wakati mu nguudo.

Naye wadde nga biri bwe bityo, obusungu bwa Mukama Katonda tebunnakakkana
    era omukono gwe gukyagoloddwa.

Read full chapter

26 (A)Eno y’entegeka eyategekerwa ensi yonna:
    era guno gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna.

Read full chapter

14 (A)Naye kaakano Mukama Katonda agamba nti, “Mu myaka esatu, ng’omukozi gwe bapangisizza bwe yandigibaze, ekitiibwa kya Mowaabu kijja kuba nga kifuuse ekivume ekinyoomebwa, newaakubadde ng’alina ekibiina ekinene; era walisigalawo abantu batono ate nga banafu ddala.”

Read full chapter

12 (A)Tunuulira buli musajja ow’amalala omukkakkanye
    era olinnyirire abakozi b’ebibi obabetentere we bali.

Read full chapter