Isaaya 5:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Mukama Katonda alayidde nga mpulira nti,
“Mu mazima ennyumba nnyingi zirifuuka bifulukkwa,
n’ezo ennene ez’ebbeeyi zibulemu abantu.
Isaaya 13:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Ndibonereza ensi olw’okwonoona kw’ayo,
n’abakozi b’ebibi olw’ebyonoono byabwe.
Era ndimalawo okweyisa kw’ab’amalala
era nzikakkanya okwenyumiriza kw’abo abakambwe.
Isaaya 26:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)Weewaawo laba Mukama Katonda ava mu kifo kye gy’abeera
okubonereza abantu b’ensi olw’ebibi byabwe.
Ensi erikwekula omusaayi ogwagiyiikako,
era teriddayo nate kukweka abattibwa.
Isaaya 30:13-14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu,
alimu enjatika era azimbye,
okutemya n’okuzibula ng’agudde.
14 (B)Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba,
n’asaasaanyizibwa awatali kusaasira,
era tewaliba luggyo ku byamenyekamenyeka olulirabika
okusobola okuyoozesa omuliro mu kyoto,
oba okusenyesa amazzi mu kinnya.”
Ezeekyeri 24:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)“ ‘Kaakano mu kwonoona kwo wagwenyuka, kubanga nagezaako okukutukuza ggwe, naye ne kitasoboka kukutukuza, era tolitukuzibwa okutuusa ekiruyi kyange bwe kirikkakkana.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.