Add parallel Print Page Options

16 (A)Ntadde ebigambo byange mu kamwa ko,
    era nkubisse mu kisiikirize ky’omukono gwange.
Nze nakola eggulu ne nteekawo emisingi gy’ensi;
    era nze wuuyo agamba Sayuuni nti,
    ‘Muli bantu bange!’ ”

Read full chapter

33 (A)“Eno y’endagaano gye nnaakola
    n’ennyumba ya Isirayiri mu kiseera ekyo,” bw’ayogera Mukama.
“Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe,
    ne ngawandiika ku mitima gyabwe.
Ndibeera Katonda waabwe,
    nabo balibeera bantu bange.

Read full chapter

10 (A)“Eno y’endagaano gye ndiragaana n’ennyumba ya Isirayiri,
    oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama.
Ndissa amateeka gange mu birowoozo byabwe
    era ndiwandiika amateeka gange ku mitima gyabwe,
nange nnaabeeranga Katonda waabwe,
    nabo banaabeeranga bantu bange.

Read full chapter

40 (A)Ndikola nabo endagaano eteriggwaawo: siribaleka era sirirekeraawo kubakolera birungi, era ndibassaamu omwoyo oguntya, baleme kuddayo kunvaako.

Read full chapter

19 (A)Ndibawa omutima gumu ne mbateekamu omwoyo omuggya; ndibaggyamu omutima ogw’ejjinja, ne mbawa omutima ogw’ennyama.

Read full chapter