Add parallel Print Page Options

(A)Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi,
    alangirira emirembe,
    aleeta ebigambo ebirungi,
alangirira obulokozi,
    agamba Sayuuni nti, “Katonda wo afuga.”
(B)Wuliriza!
    Amaloboozi g’abakuumi bo gawulikika, gayimusiddwa.
Bonna awamu bajaguza olw’essanyu.
    Kubanga okudda kwa Mukama mu Sayuuni balikulaba n’amaaso gaabwe.
(C)Mubaguke okuyimba ennyimba ez’essanyu mwenna,
    mmwe ebifo bya Yerusaalemi ebyazika.
Kubanga Mukama asanyusizza abantu be,
    anunudde Yerusaalemi.
10 (D)Mukama aliraga omukono gwe omutukuvu eri amawanga gonna,
    bagulabe.
Enkomerero z’ensi zonna
    ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.

Read full chapter

Amawulire Amalungi ag’Obulokozi

61 (A)Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze,
    kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi,
    antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese.
Okulangirira eddembe eri abawambe,
    n’abasibe bateebwe
    bave mu makomera.

Read full chapter

15 (A)Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, “Ebigere by’abo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi.”

Read full chapter

(A)Mu biro ebyo balyogera nti,

“Eky’amazima oyo ye Katonda waffe;
    twamwesiga n’atulokola.
Ono ye Mukama Katonda twamwesiga;
    tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.”

Read full chapter