Add parallel Print Page Options

(A)Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye,
    Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera
    ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi
    ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.

Read full chapter

(A)Oyagala obutuukirivu n’okyawa okukola ebibi;
    noolwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akugulumiza
    n’akufukako amafuta ag’essanyu okusinga bakabaka banno bonna.

Read full chapter

(A)Abazibe b’amaaso balaba, n’abalema batambula. Abagenge balongoosebwa ne bakiggala bawulira, n’abafu bazuukizibwa n’abaavu babuulirwa Enjiri.

Read full chapter

22 (A)Abaatumibwa n’abaddamu nti, “Muddeeyo eri Yokaana mumutegeeze byonna bye muwulidde ne bye mulabye. Abazibe b’amaaso bazibulwa amaaso ne balaba, n’abalema batambula, n’abagenge[a] balongoosebwa, n’abaggavu b’amatu gagguka ne bawulira, n’abafu bazuukizibwa, era n’abaavu babuulirwa Enjiri.

Read full chapter

Footnotes

  1. 7:22 kiyinza okuba endwadde endala ez’olususu

15 (A)Kubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali waggulu
    omugulumivu omulamu emirembe n’emirembe,
ow’erinnya ettukuvu nti,
    “Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu
awamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza,
    okuzzaamu amaanyi
omwoyo gw’abakkakkamu,
    era n’ogw’abo ababoneredde.

Read full chapter

(A)Okuzibula amaaso g’abazibe,
    okuta abasibe okuva mu makomera
    n’okuggya abo abali mu bunnya, abo abali mu kizikiza.

Read full chapter

(A)nga mugamba abasibe nti, ‘Muveemu,’
    n’abo abali mu kizikiza nti, ‘Mube n’eddembe!’

“Banaaliranga ku mabbali g’ekkubo,
    ne ku ntikko z’obusozi bwonna obwereere banasangangako omuddo.

Read full chapter