Add parallel Print Page Options

Okubonaabona n’Ekitiibwa ky’Omuweereza wa Mukama

13 (A)Laba, omuweereza wange by’akola alibikozesa magezi,
    aliyimusibwa asitulibwe, era assibwemu nnyo ekitiibwa.

Read full chapter

27 (A)Katonda ataggwaawo bwe buddukiro bwo,
    era akuwanirira n’emikono gye emirembe gyonna.
Anaagobanga abalabe bo nga naawe olaba,
    n’agamba nti, ‘Bazikirize!’

Read full chapter

Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese,
    era ajjanjaba ebiwundu byabwe.

Read full chapter

18 (A)Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.

Read full chapter

17 (A)Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo.
    Omutima ogumenyese era oguboneredde,
    Ayi Katonda, toogugayenga.

Read full chapter

(A)Ebintu bino byonna emikono gyange si gye gyagikola,
    noolwekyo ebintu bino byonna byange?”
    bw’ayogera Mukama Katonda.

“Ono ye muntu gwe ntunulako;
    oyo ow’eggonjebwa era omwetoowaze mu mwoyo,
    oyo akankanira ekigambo kyange.

Read full chapter

Amawulire Amalungi ag’Obulokozi

61 (A)Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze,
    kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi,
    antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese.
Okulangirira eddembe eri abawambe,
    n’abasibe bateebwe
    bave mu makomera.

Read full chapter