Add parallel Print Page Options

26 (A)Muyimuse amaaso gammwe mulabe ebiri ku ggulu.
    Ani eyatonda ebyo byonna?
Oyo afulumya ebyaka eby’omu bbanga afulumya kina kimu,
    byonna nga bwe biri, n’abiyita amannya gaabyo.
Olw’obukulu bw’obuyinza bwe era kubanga wa maanyi ga nsusso,
    tewali na kimu kibulako.

Read full chapter

50 (A)Omukono gwange si gwe gwakola ebyo byonna!’

Read full chapter

15 (A)Kubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali waggulu
    omugulumivu omulamu emirembe n’emirembe,
ow’erinnya ettukuvu nti,
    “Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu
awamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza,
    okuzzaamu amaanyi
omwoyo gw’abakkakkamu,
    era n’ogw’abo ababoneredde.

Read full chapter

(A)“Balina omukisa abaavu mu mwoyo,
    kubanga abo Obwakabaka obw’omu ggulu bwe bwabwe.
(B)Balina omukisa abali mu nnaku,
    kubanga abo balisanyusibwa.

Read full chapter

13 (A)“Naye omuwooza n’ayimirira wala n’atasobola na kuyimusa maaso ge kutunula eri eggulu ng’asaba, wabula ne yeekuba mu kifuba ng’asaba nti, ‘Katonda, onsaasire, nze omwonoonyi.’

14 (B)“Mbagamba nti omusajja ono, omuwooza ye yaddayo eka ng’asonyiyiddwa ebibi bye. Kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”

Read full chapter

(A)Bonna abatya ebigambo bya Katonda wa Isirayiri ne bakuŋŋaanira we ndi, olw’obutali bwesigwa obw’abaawaŋŋangusibwa. Ne ntuula wansi nga nnakuwadde okutuusa ekiseera eky’ekiweebwayo eky’akawungeezi bwe kyatuuka.

Read full chapter