Add parallel Print Page Options

(A)Munoonye Mukama nga bw’akyayinzika okulabika,
    mumukaabirire nga bw’akyali okumpi.

Read full chapter

Amakulu ga Wiiki Omusanvu

20 (A)Awo bwe nnali nga njogera era nga nsaba, nga njatula ebibi byange n’ebibi by’abantu bange Isirayiri, nga neegayirira Mukama Katonda wange ku lw’olusozi lwe olutukuvu, 21 (B)awo mu kiseera ekyo nga nkyasaba, omusajja Gabulyeri, gwe nalaba mu kwolesebwa okwasooka, n’ajja gye ndi mu mbuyaga ey’amaanyi mu kiseera ekya ssaddaaka ey’akawungeezi. 22 N’aŋŋamba nti, “Danyeri, kaakano nzize okukuwa amagezi n’okutegeera. 23 (C)Amangu nga waakatandika okusaba, okwegayirira kwo kwaddibwamu era nzize okukutegeeza, kubanga oli mwagalwa nnyo. Noolwekyo ssaayo omwoyo eri ekigambo kino, otegeere bye wayolesebwa.

Read full chapter

12 (A)N’alyoka aŋŋamba nti, “Totya Danyeri, kubanga okuva ku lunaku olwasooka lwe wamalirira okutegeera ne weetoowaza mu maaso ga Katonda wo, ebigambo byo byawulirwa, era nzize olw’ebigambo byo.

Read full chapter