Add parallel Print Page Options

Okukoowoola olw’Okuddaabiriza Ennyumba ya Mukama

(A)Mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’omukaaga, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi okutegeeza Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu nti:

Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’eggye nti, “Abantu bano boogera nti, ‘Ekiseera tekinnatuuka okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.’ ”

(B)Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nga kyogera nti; (C)“Kino kye kiseera mmwe okubeera mu nnyumba zammwe enkole obulungi, naye ennyumba eyo n’erekebwa nga kifulukwa?”

(D)Kale nno bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe. (E)Musimbye bingi naye ne mukungula bitono; mulya naye temukkuta; munywa naye ennyonta tebaggwaako; mwambala naye temubuguma; mukolera empeera naye ze mukoze muziteeka mu nsawo ejjudde ebituli.”

Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe. (F)Mwambuke mu nsozi muleeteyo embaawo muzimbe ennyumba ngisanyukire, ngulumizibwe,” bw’ayogera Mukama. (G)“Mwasuubira bingi, naye mulaba bwe muvuddemu ebitono. Bye mwaleeta eka, nabifuumuula. Mumanyi ensonga? bw’ayogera Mukama ow’Eggye. Kubanga buli muntu afa ku nnyumba ye naye ennyumba yange mugigayaaliridde. 10 (H)Eggulu kyerivudde liziyizibwa okuleeta omusulo, n’ettaka n’okuleeta ne litaleeta bibala byalyo. 11 (I)Nasindika ekyeya ku nnimiro ne ku nsozi, ku mmere ey’empeke ne ku wayini omuggya, ku mafuta ne ku buli bibala eby’ettaka, ku bantu ne ku nsolo, ne ku mirimu gyonna egy’engalo.”

12 (J)Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, ye yali kabona asinga obukulu, n’abantu bonna abaasigalawo ne bagondera eddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, n’obubaka bwa nnabbi Kaggayi, kubanga Mukama Katonda waabwe ye yamutuma. Abantu ne batya Mukama.

13 (K)Awo Kaggayi omubaka wa Mukama n’ategeeza abantu obubaka obwava eri Mukama nti, “Ndi wamu nammwe,” bw’ayogera Mukama. 14 (L)Awo Mukama n’akubiriza omutima gwa Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, n’omutima gwa Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu, n’emitima egy’abantu bonna abaasigalawo, ne bajja ne batandika omulimu ku nnyumba ya Mukama ow’Eggye, Katonda waabwe, 15 (M)ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya mu mwezi ogw’omukaaga mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo.

A Call to Build the House of the Lord

In the second year of King Darius,(A) on the first day of the sixth month, the word of the Lord came through the prophet Haggai(B) to Zerubbabel(C) son of Shealtiel, governor(D) of Judah, and to Joshua(E) son of Jozadak,[a](F) the high priest:(G)

This is what the Lord Almighty(H) says: “These people(I) say, ‘The time has not yet come to rebuild the Lord’s house.(J)’”

Then the word of the Lord came through the prophet Haggai:(K) “Is it a time for you yourselves to be living in your paneled houses,(L) while this house remains a ruin?(M)

Now this is what the Lord Almighty says: “Give careful thought(N) to your ways. You have planted much, but harvested little.(O) You eat, but never have enough.(P) You drink, but never have your fill.(Q) You put on clothes, but are not warm. You earn wages,(R) only to put them in a purse with holes in it.”

This is what the Lord Almighty says: “Give careful thought(S) to your ways. Go up into the mountains and bring down timber(T) and build my house, so that I may take pleasure(U) in it and be honored,(V)” says the Lord. “You expected much, but see, it turned out to be little.(W) What you brought home, I blew(X) away. Why?” declares the Lord Almighty. “Because of my house, which remains a ruin,(Y) while each of you is busy with your own house. 10 Therefore, because of you the heavens have withheld(Z) their dew(AA) and the earth its crops.(AB) 11 I called for a drought(AC) on the fields and the mountains,(AD) on the grain, the new wine,(AE) the olive oil(AF) and everything else the ground produces, on people and livestock, and on all the labor of your hands.(AG)

12 Then Zerubbabel(AH) son of Shealtiel, Joshua son of Jozadak, the high priest, and the whole remnant(AI) of the people obeyed(AJ) the voice of the Lord their God and the message of the prophet Haggai, because the Lord their God had sent him. And the people feared(AK) the Lord.

13 Then Haggai,(AL) the Lord’s messenger,(AM) gave this message of the Lord to the people: “I am with(AN) you,” declares the Lord. 14 So the Lord stirred up(AO) the spirit of Zerubbabel(AP) son of Shealtiel, governor of Judah, and the spirit of Joshua son of Jozadak,(AQ) the high priest, and the spirit of the whole remnant(AR) of the people. They came and began to work on the house of the Lord Almighty, their God, 15 on the twenty-fourth day of the sixth month.(AS)

The Promised Glory of the New House

In the second year of King Darius,(AT)

Footnotes

  1. Haggai 1:1 Hebrew Jehozadak, a variant of Jozadak; also in verses 12 and 14