Add parallel Print Page Options

    (A)na buli lwe nawonyanga Isirayiri,
ebibi bya Efulayimu ne birabika,
    n’ebikolwa eby’ekyejo ebya Samaliya nabyo ne birabika.
Balimba,
    bamenya ne bayingira mu mayumba,
    era batemu abateega abantu mu makubo.
(B)Naye tebalowooza
    nga nzijukira ebikolwa byabwe byonna ebibi.
Ebibi byabwe bibazingizza,
    era mbiraba.

(C)“Kabaka asanyukira obutali butuukirivu bwabwe,
    n’abakungu basanyukira obulimba bwabwe.
(D)Bonna benzi;
    bali ng’ekyoto ekyaka omuliro,
omufumbi w’emigaati gw’ateetaaga kuseesaamu
    okutuusa obutta bw’agoye, lwabuusa ku kyoto ne buzimbulukuka.
(E)Ku lunaku kabaka lw’agabula embaga,
    abakungu ettamiiro lya wayini ne libalwaza,
    kabaka ne yeegatta n’abanyoomi.
(F)Emitima gyabwe gyokerera nga oveni
    mu busungu bwabwe;
Obusungu bwabwe bubuguumirira ekiro kyonna;
    mu makya ne bwaka ng’omuliro.
(G)Bonna bookya nga oveni,
    era bazikiriza abakulembeze baabwe.
Bakabaka baabwe bonna bagudde;
    tewali n’omu ku bo ankowoola.

(H)“Efulayimu yeegattika ne bannaggwanga;
    Efulayimu mugaati oguyiddeko oluuyi olumu.
(I)Bannaggwanga banyuunyunta amaanyi ge
    naye takimanyi.
Mu nviiri ze mulimu envi,
    naye takiraba.
10 (J)Okwekulumbaza kwa Isirayiri kwe kubalumiriza,
    naye newaakubadde ng’ebyo byonna bimutuuseeko
tadda eri Mukama Katonda we
    newaakubadde okumunoonya.

11 (K)“Efulayimu ali ng’ejjiba,
    alimbibwalimbibwa mangu era talina magezi;
bakaabira Misiri,
    era bagenda eri Obwasuli.
12 (L)Bwe baliba balaga eyo, ndibasuulako akatimba,
    era ndibassa wansi ng’ennyonyi ez’omu bbanga.
Bwe ndiwulira nga bakuŋŋaana, ndibaziyiza.
13 (M)Zibasanze,
    kubanga bawabye ne banvaako.
Baakuzikirira
    kubanga banjemedde.
Njagala nnyo okubanunula,
    naye banjogerako eby’obulimba.
14 (N)Tebankaabira n’emitima gyabwe,
    wabula ebiwoobe babikubira ku bitanda byabwe.
Bakuŋŋaana awamu olw’emmere ey’empeke ne wayini,
    naye ne banjeemera.
15 (O)Nabayigiriza ne mbawa n’amaanyi,
    naye bansalira enkwe.
16 (P)Tebakyukira oyo Ali Waggulu Ennyo;
    bafuuse ng’omutego gw’akasaale ogwayonooneka;
abakulembeze baabwe balifa kitala,
    olw’ebigambo byabwe ebya kalebule.
Era kyebaliva babasekerera
    mu nsi y’e Misiri.”

whenever I would heal Israel,
the sins of Ephraim are exposed
    and the crimes of Samaria revealed.(A)
They practice deceit,(B)
    thieves break into houses,(C)
    bandits rob in the streets;(D)
but they do not realize
    that I remember(E) all their evil deeds.(F)
Their sins engulf them;(G)
    they are always before me.

“They delight the king with their wickedness,
    the princes with their lies.(H)
They are all adulterers,(I)
    burning like an oven
whose fire the baker need not stir
    from the kneading of the dough till it rises.
On the day of the festival of our king
    the princes become inflamed with wine,(J)
    and he joins hands with the mockers.(K)
Their hearts are like an oven;(L)
    they approach him with intrigue.
Their passion smolders all night;
    in the morning it blazes like a flaming fire.
All of them are hot as an oven;
    they devour their rulers.
All their kings fall,(M)
    and none of them calls(N) on me.

“Ephraim mixes(O) with the nations;
    Ephraim is a flat loaf not turned over.
Foreigners sap his strength,(P)
    but he does not realize it.
His hair is sprinkled with gray,
    but he does not notice.
10 Israel’s arrogance testifies against him,(Q)
    but despite all this
he does not return(R) to the Lord his God
    or search(S) for him.

11 “Ephraim is like a dove,(T)
    easily deceived and senseless—
now calling to Egypt,(U)
    now turning to Assyria.(V)
12 When they go, I will throw my net(W) over them;
    I will pull them down like the birds in the sky.
When I hear them flocking together,
    I will catch them.
13 Woe(X) to them,
    because they have strayed(Y) from me!
Destruction to them,
    because they have rebelled against me!
I long to redeem them
    but they speak about me(Z) falsely.(AA)
14 They do not cry out to me from their hearts(AB)
    but wail on their beds.
They slash themselves,[a] appealing to their gods
    for grain and new wine,(AC)
    but they turn away from me.(AD)
15 I trained(AE) them and strengthened their arms,
    but they plot evil(AF) against me.
16 They do not turn to the Most High;(AG)
    they are like a faulty bow.(AH)
Their leaders will fall by the sword
    because of their insolent(AI) words.
For this they will be ridiculed(AJ)
    in the land of Egypt.(AK)

Footnotes

  1. Hosea 7:14 Some Hebrew manuscripts and Septuagint; most Hebrew manuscripts They gather together