Add parallel Print Page Options

12 (A)Ne bwe balikuza abaana baabwe,
    ndibabaggyako bonna.
Ziribasanga
    bwe ndibavaako.

Read full chapter

10 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku bantu be nti,

“Baagala nnyo okubula,
    tebaziyiza bigere byabwe.
Noolwekyo Mukama tabakkiriza
    era kaakano wakujjukira obutali butuukirivu bwabwe
    era ababonereze olw’ebibi byabwe.”

Read full chapter

(A)Ennafu temuzizzaamu maanyi, so n’endwadde temuzijjanjabye, so n’ezirumizibbwa temusibye biwundu byazo, so n’ezibuze temuzikomezzaawo, naye muzifuze n’amaanyi. (B)Kyezaava zisaasaana, kubanga tezaalina musumba, ne ziba kya kulya eri ensolo enkambwe zonna ez’omu nsiko. (C)Endiga zange zaasaasaana, ne zibuna ku nsozi zonna na ku buli kasozi akawanvu, ne zisaasaana okubuna ensi yonna, ne zibulwako azinoonya wadde okuzibuuliriza.

Read full chapter

17 (A)Katonda wange alibavaako
    kubanga tebamugondedde;
    baliba momboze mu mawanga.

Read full chapter

    (A)na buli lwe nawonyanga Isirayiri,
ebibi bya Efulayimu ne birabika,
    n’ebikolwa eby’ekyejo ebya Samaliya nabyo ne birabika.
Balimba,
    bamenya ne bayingira mu mayumba,
    era batemu abateega abantu mu makubo.

Read full chapter

37 (A)“Ggwe Yerusaalemi, ggwe Yerusaalemi atta bannabbi, n’okuba amayinja abo ababa batumiddwa gy’oli, emirundi nga mingi nnyo gye njagadde okukuŋŋaanya abaana bo ng’enkoko bw’ekuŋŋaanya obwana bwayo mu biwaawaatiro byayo, naye n’ogaana.

Read full chapter