Add parallel Print Page Options

101 (A)Neekuumye obutatambulira mu kkubo lyonna ekyamu,
    nsobole okugondera ekigambo kyo.

Read full chapter

25 (A)Tokooya bigere byo,
    era tokaza mimiro gyo.
Naye n’oddamu nti, “Ebyo bya bwereere,
    sisobola kukyuka, nayagala bakatonda abalala,
    nteekwa okubanoonya.”

Read full chapter

20 (A)Omugavu oguva e Seeba bampa gwa ki?
    Oba zino emmuli ezakaloosa eziva mu nsi ey’ewala?
Ebiweebwayo byammwe ebyokebwa sijja kubikkiriza,
    n’essaddaaka zammwe tezinsanyusa.”

Read full chapter

22 (A)Weewaawo, ne bwe munaawaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke,
    sijja kubikkiriza.
Ne bwe mulireeta ebiweebwayo olw’emirembe ebisinga obulungi,
    siribikkiriza.

Read full chapter

(A)Boonoonye nnyo nnyini
    nga mu nnaku ez’e Gibea.
Katonda alijjukira obutali butuukirivu bwabwe,
    n’ababonereza olw’ebibi byabwe.

Read full chapter

21 (A)“Obubaane bwammwe bwe mwayotereza mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yerusaalemi, mmwe ne bakitammwe, ne bakabaka bammwe, n’abakungu n’abantu bonna mu nsi, ebyo Mukama si bye yajjukira n’alowoozaako? 22 (B)Mukama nga takyayinza kugumiikiriza bikolwa byammwe bibi n’eby’emizizo bye mwakola, ensi yammwe kyeyava efuuka ekikolimo n’ekyenyinyalwa era eteriimu bantu, nga bweri leero. 23 (C)Kubanga mwotereza obubaane abalala era ne mukola ebibi mu maaso ga Mukama Katonda ne mutamugondera wadde okugoberera amateeka ge oba ebiragiro bye oba bye yategeeza, emitawaana gibagidde nga kaakano bwe mulabye.”

Read full chapter

13 (A)Bawaayo ebiweebwayo gye ndi,
    ne balya ennyama yaabyo,
    Mukama tabasanyukira.
Kaakano alijukira obutali butuukirivu bwabwe
    n’ababonereza olw’ebibi byabwe:
    Baliddayo e Misiri.

Read full chapter