Add parallel Print Page Options

23 (A)“Ddira ebyakawoowo bino eby’omuwendo: Kiro mukaaga ez’omugavu omuyenge omuka, ne kiro ssatu eza kinamoni, ne kiro ssatu eza kalamu omuwoomerevu;

Read full chapter

22 (A)Weewaawo, ne bwe munaawaayo gye ndi ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke,
    sijja kubikkiriza.
Ne bwe mulireeta ebiweebwayo olw’emirembe ebisinga obulungi,
    siribikkiriza.

Read full chapter

(A)Sikunenya lwa ssaddaaka zo,
    oba ebiweebwayo ebyokebwa by’ossa mu maaso gange bulijjo.
(B)Sikyakkiriza nte nnume n’emu evudde mu kiralo kyo,
    wadde embuzi ennume ezivudde mu bisibo byo.
10 (C)Kubanga buli nsolo ey’omu kibira yange,
    awamu n’ente eziri ku nsozi olukumi.

Read full chapter

Okugaana Okuwulira Bannabbi

21 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Mugatte ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ku ssaddaaka zammwe, ennyama mugyeriire.

Read full chapter

(A)Mukama alisiima endiga eza sseddume olukumi,
    oba emitwalo gy’emigga gy’amafuta?
Mpeeyo omwana wange omubereberye olw’ebibi byange,
    nga mpaayo ekibala ky’omubiri gwange olw’ekibi eky’emmeeme yange?
(B)Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola.
    Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza,
okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa
    era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.

Read full chapter

11 (A)“Ssaddaaka enkumu ze munsalira
    zingasa ki?
Nkooye endiga ennume
    enjokye eziweebwayo,
so sisanyukira musaayi gwa nte,
    newaakubadde ogw’abaana b’endiga, newaakubadde ogw’embuzi ennume,” bw’ayogera Mukama.

Read full chapter