Malaki 3:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)“Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw’okujja kwe, era ani aliyimirira ye bw’alirabika? Kubanga ali ng’omuliro gw’oyo alongoosa effeeza era nga sabbuuni ow’abayoza.
Read full chapter
Isaaya 48:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Laba nkugezesezza naye si nga ffeeza.
Nkugezesezza mu kirombe ky’okubonaabona.
1 Peetero 1:6-7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Ekyo, kijja kubasanyusa nnyo newaakubadde nga mujja kusanga ebizibu bya ngeri nnyingi okumala akaseera. 7 (B)Kubanga okugezesebwa kw’okukkiriza kwammwe, kwa muwendo mungi nnyo okusinga zaabu egezebwa mu muliro n’ekakasibwa, kulyoke kusaanire ettendo n’ekitiibwa n’okugulumizibwa ku lunaku luli Mukama waffe Yesu Kristo lw’alirabikirako.
Read full chapter
Zabbuli 50:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Bw’obanga mu buzibu,
nnaakuwonyanga, naawe onongulumizanga.”
Zekkaliya 10:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)“Ndiwa ennyumba ya Yuda amaanyi
era ndiwonya ennyumba ya Yusufu,
ndibakomyawo
kubanga mbakwatiddwa ekisa.
Balibeera
nga be sseegaanangako
era ndibawulira
kubanga nze Mukama Katonda waabwe.
Yeremiya 30:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 ‘Noolwekyo munaabeeranga bantu bange,
nange n’abeeranga Katonda wammwe.’ ”
Yeremiya 29:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)“Awo mulimpita ne mujja ne munsaba, nange ne mbawulira,” bw’ayogera Mukama.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.