Add parallel Print Page Options

24 (A)N’abagerera olugero olulala nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye,

Read full chapter

35 “Mube beetegefu olw’obuweereza, era mukuume ettabaaza zammwe nga zaaka. 36 Mube ng’abasajja abalindirira mukama waabwe; bw’akomawo okuva mu mbaga y’obugole, n’akonkona banguwa okumuggulirawo oluggi. 37 (A)Balina omukisa abaddu abo, mukama waabwe baalisanga nga batunula. Ddala ddala mbagamba nti, agenda kwambala atuuze abaddu abo ku mmeeza abagabule. 38 Balina omukisa abo, bw’alijja mu kisisimuka ekyokusatu, baalisanga nga batunula.

Read full chapter

(A)Mu kisenge ekya waggulu mwe twali tukuŋŋaanidde mwalimu ettaala nnyingi nga zaaka.

Read full chapter

(A)Mu ntebe eyo ey’obwakabaka ne muvaamu okumyansa n’amaloboozi n’okubwatuka. Mu maaso g’entebe eyo waaliwo ettabaaza ezaaka musanvu, nga gy’emyoyo omusanvu egya Katonda.

Read full chapter

(A)Ka tusanyuke, tujaguze,
    era tumugulumize,
kubanga ekiseera kituuse eky’embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga,
    era n’omugole we yeeteeseteese.

Read full chapter

(A)Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva ewa Katonda mu ggulu, nga kiri ng’omugole bw’abeera ku mbaga ey’obugole bwe, ng’ayonjereddwa bbaawe.

Read full chapter