Add parallel Print Page Options

Noolwekyo mumusabenga bwe muti nti,

Kitaffe ali mu ggulu,
Erinnya Lyo litukuzibwe.

Read full chapter

39 (A)“Noolwekyo osaana okitegeerere ddala okuva ku lunaku lwa leero, era okinywereze ddala mu mutima gwo nti Mukama ye Katonda yekka ali waggulu mu ggulu ne wansi ku nsi; so tewali mulala.

Read full chapter

11 (A)Obukulu, n’amaanyi, n’ekitiibwa, n’obuwanguzi,
    n’okugulumizibwa bibyo, Ayi Mukama Katonda,
    kubanga byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi bibyo.
Obwakabaka bubwo, Ayi Mukama Katonda,
    era ogulumizibwa okuba omukulu wa byonna.
12 (B)Obugagga n’ekitiibwa biva gy’oli,
    era ggwe ofuga ebintu byonna;
omukono gwo gwa maanyi era gwa buyinza
    era gugulumiza ne guwa amaanyi bonna.

Read full chapter