Add parallel Print Page Options

18 (A)Katonda ki omulala ali nga ggwe,
    asonyiwa ekibi era n’asonyiwa ebyonoono byabo
    abaasigalawo ku bantu be?
Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna,
    naye asanyukira okusaasira.

Read full chapter

19 (A)Alikyuka n’atukwatirwa ekisa nate; alirinnyirira ebibi byaffe,
    n’asuula ebyonoono byaffe byonna mu buziba bw’ennyanja.

Read full chapter

34 (A)Omuntu taliddayo kuyigiriza muliraanwa we,
    oba omusajja muganda we ng’agamba nti, ‘Manya Mukama,’
Kubanga bonna balimmanya,
    okuva ku asokerwako wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,”
    bw’ayogera Mukama.
“Kubanga ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe,
    n’ekibi kyabwe ne siddamu kukijjukira.”

Read full chapter

(A)Singa Mukama ow’Eggye
    teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo
twandibadde nga Sodomu,
    twandifuuse nga Ggomola.

Read full chapter