Add parallel Print Page Options

(A)Kubanga omulenzi agaya kitaawe,
    n’omwana alwanyisa nnyina,
muka mwana n’alwanyisa nnyazaala we.
    Abalabe b’omuntu, bantu be, ab’omu nju ye bennyini.

Read full chapter

21 (A)“Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa era n’abazadde baliwaayo abaana baabwe okuttibwa. Abaana nabo balyefuukira bazadde baabwe ne babatta.

Read full chapter

51 Mulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi? Mbategeeza nti sajja kuleeta mirembe wabula okwawukana. 52 Okuva kaakano amaka gajjanga kwawukanamu, ag’abantu abataano, abasatu ku bo nga bawakanya ababiri, n’ababiri nga bawakanya abasatu. 53 (A)Kitaawe w’omwana alyawukana ne mutabani we, n’omwana n’ayawukana ne kitaawe, ne nnyina w’omwana alyawukana ne muwala we n’omuwala n’ayawukana ne nnyina, ne nnyazaala balyawukana ne muka mwana we ne muka mwana n’ayawukana ne nnyazaala we.”

Read full chapter