Add parallel Print Page Options

Ebibi bya Nineeve

(A)Zikusanze ggwe ekibuga eky’omusaayi!
    Kyonna ekijjudde eby’obulimba
n’obunyazi,
    ekitaggwaamu banyagiddwa.
Muwulire okuvuga kw’embooko,
    n’okuvuuma kwa namuziga z’amagaali
n’ebigere by’embalaasi nga bwe bivuga
    n’amagaali nga gakubaganira mu nguudo!
(B)Laba eggye ery’embalaasi erirumba,
    n’ebitala ebitemagana,
    n’amafumu agamyansa.
Abatuukiddwako ebisago nga bayitirivu,
    ne ntuumu ennene ez’emirambo
egitamanyiddwa muwendo;
    abantu bagirinnyirira.
(C)Bino byonna biri bityo kubanga Nineeve yeeweerayo ddala okwetunda eri abalabe ba Katonda obutasalako, nga malaaya omukulu,
    kye kibuga ekikyaamu ekitali kyesigwa ekyawubisa ebirala, omukulu w’obufumu,
ekyafuula amawanga abaddu baakyo olw’obwamalaaya bwakyo,
    n’olw’obulogo bwakyo.
(D)“Laba nkwolekedde,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye,
    “era nditikka engoye zo ne zidda ku mutwe gwo.
Ensi zonna ziriraba obwereere bwo
    n’obwakabaka bwonna bulabe ensonyi zo.
(E)Ndikukanyugira kazambi,
    era ndikufuula ekyenyinyalwa
    ne nkufuula eky’okwelolera.
(F)Awo bonna abalikutunuulira balikwesamba ne bagamba nti,
    ‘Nineeve kifuuse matongo, ani anakikungubagira?’
    Abalikikubagiza baliva wa?”

(G)Ggwe Nineeve ggw’osinga Tebesi
    ekyali kizimbiddwa ku mugga Kiyira
    ng’amazzi gakyetoolodde okukikuuma ku njuyi zonna?
Olukomera lwakyo gwali mugga
    era amazzi ge gaali bbugwe waakyo.
(H)Esiyopya ne Misiri ze zaakiwagiranga.
    Ate nga Abapuuti[a] n’ab’omu Libiya nabo nga bakiyamba.
10 (I)Kyawambibwa, ne kitwalibwa mu buwaŋŋanguse.
    Abaana bwakyo abawere babetentebwa mu ntandikwa ya buli luguudo.
Abakungu baakyo baakubirwa obululu,
    n’abasajja be ab’amaanyi baasibibwa mu njegere.
11 (J)Nineeve naawe olitamiira,
    olyekweka
    ng’onoonya obuddukiro owone omulabe wo.

12 (K)Ebigo byo byonna biri ng’emitiini
    egiriko ebibala ebisooka okwengera;
bwe ginyeenyezebwa
    ne bigwa mu kamwa k’oyo anaabirya.
13 (L)Laba abalwanyi bammwe balinafuwa
    ne batiitiira ng’abakazi.
Enzigi z’ensi yo
    nzigule eri abalabe bo.
    Era omuliro gwokezza emikiikiro gyazo.

14 (M)Weenyweze bajja kukulumba!
    Weeterekere ku mazzi g’onoonywako.
Nyweza ebisenge byo.
    Noonya ettaka olisambe
    oddaabirize ekisenge eky’amatoffaali.
15 (N)Omuliro gulikulya,
    ekitala kirikuzikiriza.
    Wenna oliriibwa ng’enzige bwe zirya ebirime.
Mweyongere obungi ng’enseenene,
    mwale ng’enzige.
16 Mwongedde ku bungi bwa basuubuzi bammwe
    okusinga emmunyeenye ez’oku ggulu.
Naye ensi baligikaza okufaanana ng’enzige bwe zimalawo ensi
    ne ziryoka zibuuka.
17 (O)Abakuumi bammwe bali ng’enzige,
    n’abakungu bammwe ng’ebibinja by’enzige
    ezibeera ku bisenge ku lunaku olw’obutiti.
Enjuba bw’evaayo zibuuka
    ne ziraga etamanyiddwa.

18 (P)Abasumba bo nga babongoota, ggwe kabaka wa Bwasuli,
    n’abakungu abeekitiibwa bagalamidde nga bawumuddeko.
Abantu bo basaasaanira ku nsozi
    nga tewali n’omu abakuŋŋaanya.
19 (Q)Tewali kisobola kuwonya
    kiwundu kyo ekinene bwe kityo.
Bonna abawulira ebikuguddeko
    bakuba bukubi mu ngalo olw’okugwa kwo.
Ani ataakosebwa
    olw’ettima lyo eringi?

Kubanga muntu ki ataatuusibwako bukambwe bwo obwa buli kakedde?

Footnotes

  1. 3:9 Abapuuti ne Abapuuli balabika nga baali bantu ba mu kitundu kye kimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya