Add parallel Print Page Options

12 (A)Tosaanye kusekerera muganda wo
    mu biseera bye eby’okulaba ennaku,
wadde okusanyuka ku lunaku
    olw’okuzikirira kw’abantu ba Yuda,
newaakubadde okwewaana ennyo
    ku lunaku lwe baatawaanyizibwa ennyo.

Read full chapter

(A)oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Nkulinako ensonga, olusozi Seyiri, era ndikugolererako omukono gwange ne nkufuula amatongo.

Read full chapter

(A)Weewaawo ekitala kyange kinywedde ne kijjuzibwa mu ggulu,
    era laba, kikkira ku Edomu okusala omusango,
    abantu be mmaliddewo ddala.
Ekitala kya Mukama kisaabye omusaayi,
    kiriko amasavu,
omusaayi gw’abaana b’endiga n’embuzi,
    amasavu agava mu nsingo za sseddume.
Mukama alina ekiweebwayo mu Bozula,
    era waliyo n’okuttibwa okw’amaanyi mu Edomu.

Read full chapter

11 (A)Ekiwuugulu eky’omu ddungu n’ekiwuugulu ekireekaana, birikibeeramu.
    Ekiwuugulu ekinene ne namuŋŋoona birizimbamu ebisu byabyo.
Katonda aligololera ekipimo eky’okwewunika,
    n’ekipimo ekinaaleka Edomu nga njereere.

Read full chapter

11 (A)“Kubanga musanyuka ne mujaguza,
    mmwe abaanyaga omugabo gwabwe,
kubanga muligita ng’ente enduusi ewuula emmere ey’empeke,
    ne muleekaana ng’embalaasi ennume enkulu,
12 nnyammwe alikwatibwa ensonyi;
    oyo eyakuzaala aliswazibwa.
Aliba ensi esemberayo ddala,
    ensiko, ensi enkalu, eddungu.
13 (B)Olw’obusungu bwa Mukama Katonda tajja kubeeramu bantu,
    naye alisigala matongo.
Bonna abayita e Babulooni balyewuunya batye era bakisooze
    olw’ebiwundu bye byonna.

Read full chapter

21 (A)Sanyuka ojaguze, ggwe Omuwala wa Edomu,
    abeera mu nsi ya Uzi;
naye lumu olinywa ku kikompe
    n’otamiira ne weeyambula.

Read full chapter