Add parallel Print Page Options

(A)n’abagamba nti, “Muwulirize ebigambo byange:

“Mu mmwe bwe mubaamu nnabbi wa Mukama Katonda,
    nneeraga gy’ali mu kulabikirwa, oba
    njogera naye mu birooto.

Read full chapter

(A)Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi,
    werinnyire ku lusozi oluwanvu;
ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi,
    yimusa eddoboozi lyo n’amaanyi, liyimuse oyogere, totya.
    Gamba ebibuga bya Yuda nti, “Laba Katonda wammwe ajja!”

Read full chapter

Olusozi lwa Mukama

(A)Kuno kwe kwolesebwa Isaaya omwana wa Amozi kwe yalaba ku Yuda ne Yerusaalemi.

Read full chapter

22 (A)Ebyafaayo ebirala eby’omu mirembe gya Uzziya, okuva ku ntandikwa okutuusa ku nkomerero, byawandiikibwa Isaaya nnabbi, mutabani wa Amozi.

Read full chapter

Akazi Kabaka wa Yuda

16 (A)Mu mwaka ogw’ekkumi n’omusanvu ogw’obufuzi bwa Peka mutabani wa Lemaliya, Akazi[a] mutabani wa Yosamu kabaka wa Yuda, n’atandika okufuga.

Read full chapter

Footnotes

  1. 16:1 Akazi yafugira wamu ne kitaawe Yosamu mu 735 bc.