Add parallel Print Page Options

Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali mu abo abaagenda okuketta ensi, ne bayuzaayuza engoye zaabwe[a], (A)ne bagamba ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri nti, “Ensi gye twayitaayitamu okugiketta, nsi nnungi nnyo. (B)Mukama Katonda bw’aliba atusanyukidde, alitukulembera n’atutuusa mu nsi eyo, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, era agenda kugituwa. (C)Kyokka temujeemera Mukama Katonda, era n’abantu b’omu nsi omwo temubatya, kubanga kuliba kumenya mu jjenje kkalu; tebakyalina abakuuma, ate nga Mukama Katonda ali wamu naffe. Temubatya.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 14:6 ne bayuzaayuza engoye zaabwe kaali kabonero ak’okukaaba n’okulaga obusungu.

(A)Naye baganda bange be nnali nabo ne baleteera emitima gy’abantu okuggwaamu amaanyi olw’okutya, wabula nze nagoberera Mukama Katonda wange n’omutima gwange gwonna.

Read full chapter

14 Olusozi Kebbulooni ne lufuuka lwa Kalebu mutabani wa Yefune ne leero, kubanga yagoberera ddala Mukama Katonda wa Isirayiri.

Read full chapter

12 (A)tewalibaawo n’omu okuggyako Kalebu mutabani wa Yefune Omukenizi[a], ne Yoswa mutabani wa Nuuni, kubanga abo baagondera Mukama Katonda n’omutima gwabwe gwonna.’

Read full chapter

Footnotes

  1. 32:12 Okusinziira ku Olubereberye 15:19 ne 36:11 Abakenizi baali Bakanani, era nga bazzukulu ba Esawu.