Add parallel Print Page Options

30 (A)“Naye buli muntu anaakolanga ekibi mu bugenderevu, bw’anaabanga enzaalwa ne bw’anaabeeranga omugwira abeera mu mmwe, omuntu oyo anaabanga avvodde Mukama Katonda, noolwekyo anaagobwanga mu bantu be, ne bamwesalirako ddala.

Read full chapter

20 (A)kubanga Katonda yennyini ye yakakanyaza emitima gyabwe balwane ne Isirayiri, alyoke abazikiririze ddala, abamalirewo ddala awatali kubakwatirwa kisa, nga Mukama bwe yalagira Musa.

Read full chapter

17 (A)Musalenga emisango awatali kyekubiira; abagagga n’abaavu nga mubawuliriza kyenkanyi. Endabika y’omuntu tebatiisanga, kubanga Katonda y’asala emisango gyonna. Bwe wabangawo omusango gwonna omukakanyavu muguleetanga gye ndi, nze nnaaguwuliranga.’

Read full chapter

14 (A)Kyenva ndayirira ennyumba ya Eri nga ŋŋamba nti, ‘Omusango oguli ku nnyumba ya Eri tegulisonyiyibwa na ssaddaaka newaakubadde ekiweebwayo ennaku zonna.’ ”

Read full chapter

26 (A)Singa tukola ebibi mu bugenderevu, nga tumaze okumanya amazima, waba tewakyaliwo ssaddaaka eweebwayo olw’ekibi.

Read full chapter