Add parallel Print Page Options

(A)“Ebbanga lyonna ly’anaamalanga ng’ali mu bweyamo bwe obwo, kkirita teyitenga ku mutwe gwe. Anaabanga mutukuvu eri Mukama Katonda okutuusa ekiseera kye eky’okweyawula nga kiweddeko; era enviiri ez’oku mutwe gwe anaazirekanga ne zikula ne ziwanvuwa.

Read full chapter

11 (A)Ne yeeyama ng’agamba nti, “Ayi Mukama Ayinzabyonna, bw’olitunuulira ennaku ey’omuweereza wo, n’onzijukira, n’ompa omwana owoobulenzi, ndimuwaayo eri Mukama Katonda ennaku zonna ez’obulamu bwe nga muwonge, era enviiri ze teziimwebwengako.”

Read full chapter

(A)“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Omusajja oba omukazi bw’anaabanga ayagala okukola obweyamo obw’enjawulo obutali bwa bulijjo ne yeetukuza ne yeeyawula eri Mukama ng’Omunazaalayiti[a],

Read full chapter

Footnotes

  1. 6:2 Omunazaalayiti Omuntu yasobolanga okuba Omunazaalayiti okumala ennaku amakumi asatu oba obulamu bwe bwonna. Kyalinga kya kyenneyagalire, kyokka oluusi abazadde b’omwana bebeeyamanga ku lw’abaana baabwe abato, abaana ne bafuuka Abanazaalayiti obulamu bwabwe bwonna. Obweyamo bwalimu ebintu bisatu: obutakomba ku nvinnyo wadde ekintu kyonna ekitamiiza; enviiri ze tezaasalibwangako, wadde ekirevu kye okumwebwa; teyakwatanga ku mulambo

13 (A)“Lino ly’etteeka erinaakwatanga ku Munnazaalayiti ebbanga lye ery’obweyamo obw’okweyawula bwe linaggwangako. Anaaleetebwanga ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.

Read full chapter

13 (A)Abafirisuuti ne bawangulwa, ne bataddayo nate kulumba Isirayiri. Era ennaku zonna eza Samwiri, omukono gwa Mukama ne gunyigiriza Abafirisuuti.

Read full chapter