Add parallel Print Page Options

Abafuuyi b’Amakondeere

(A)Awo bamalayika omusanvu abaalina amakondeere omusanvu ne beetegeka okufuuwa amakondeere gaabwe.

(B)Malayika ow’olubereberye n’afuuwa ekkondeere lye, omuzira n’omuliro nga byetabudde n’omusaayi ne bisuulibwa wansi ku nsi. Ekitundu ekyokusatu eky’ensi ne kiggya omuliro, bwe kityo n’ekitundu kimu kya kusatu eky’emiti ne kiggya omuliro, n’omuddo gwonna ne guggya.

(C)Malayika owookubiri n’afuuwa ekkondeere lye, ekintu ekinene ennyo nga kifaanana ng’olusozi olunene ennyo nga lwonna lwaka omuliro ne kisuulibwa mu nnyanja. Ekitundu ekimu ekyokusatu ekyennyanja ne kifuuka omusaayi, (D)n’ekimu ekyokusatu eky’ebitonde eby’omu nnyanja ne kifa, n’ekitundu ekimu ekyokusatu eky’amaato ne kizikirira.

10 (E)Malayika owookusatu n’afuuwa ekkondeere lye, emmunyeenye ennene eyakaayakana n’egwa okuva mu ggulu, n’egwa mu kitundu ekimu ekyokusatu eky’emigga n’ensulo z’amazzi. 11 (F)Emmunyeenye eyo yali eyitibwa “Kukaawa” n’etteeka obutwa mu kitundu ekimu ekyokusatu eky’amazzi gonna, abantu bangi ne bafa.

12 (G)Malayika owookuna n’afuuwa ekkondeere lye, ekitundu ekimu ekyokusatu eky’enjuba n’ekimu ekyokusatu eky’omwezi, n’ekimu ekyokusatu eky’emmunyeenye, ne bikubwa; era ekyavaamu, obudde obw’emisana ne buzikirako ekitundu ekimu ekyokusatu, n’ekiro ne kyeyongera okukwata ekitundu ekimu ekyokusatu, n’omusana ne gulema okwaka ekitundu ekimu ekyokusatu, n’ekizikiza ne kyeyongera bwe kityo.

13 (H)Ne ndaba empungu emu ng’ebuuka mu bbanga ng’ereekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Zibasanze, Zibasanze, Zibasanze abantu ab’oku nsi olw’ebintu eby’entiisa ebinaatera okubatuukako kubanga bamalayika abasatu abasigaddeyo banaatera okufuuwa amakondeere gaabwe.”

Read full chapter

(A)Awo malayika owookutaano n’afuuwa ekkondeere lye, ne ndaba emmunyeenye ng’eva mu ggulu ng’egwa ku nsi era n’eweebwa ekisumuluzo eky’obunnya obutakoma.

Read full chapter

13 (A)Awo malayika ow’omukaaga n’afuuwa ekkondeere lye, ne mpulira eddoboozi nga lyogera okuva mu mayembe ana agali ku kyoto ekya zaabu ekiri mu maaso ga Katonda,

Read full chapter

Ekkondeere ery’Omusanvu

15 (A)Awo malayika ow’omusanvu n’afuuwa ekkondeere lye, ne wabaawo oluyoogaano olunene ennyo mu ggulu nga lugamba nti,

“Obwakabaka bw’ensi eno kati bufuuse
    bwa Mukama waffe ne Kristo we,
    era anaafuganga emirembe n’emirembe.”

Read full chapter