Okukungubaga 5:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Omugabo gwaffe guweereddwa bannamawanga,
n’amaka gaffe gatwaliddwa abatali ba mu nnyumba.
Ekyamateeka Olwokubiri 28:48
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
48 (A)Noolwekyo ng’oli mu njala ne mu nnyonta, ng’oli bwereere, ng’oli mwavu lunkupe, ojjanga kuweerezanga balabe bo, Mukama b’anaakusindikiranga okulwana naawe! Anaakwambazanga mu bulago bwo ekikoligo eky’ekyuma okutuusa lw’alikuzikiririza ddala.
Read full chapter
Yeremiya 12:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ennaku ya Mukama olw’Abantu be
7 (A)“Njabulidde ennyumba yange,
ne ndeka omugabo gwange;
mpaddeyo abo emmeeme yange b’eyagala,
mu mikono gy’abalabe baabwe.
Yeremiya 16:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Noolwekyo ndibaggya mu nsi eno ne mbateeka mu nsi mmwe gye mutamanyi wadde bakitammwe gye bataamanya, era nga muli eyo muliweereza bakatonda abalala emisana n’ekiro, era siribakwatirwa kisa.’
Read full chapter
Yeremiya 7:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Noolwekyo bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Laba obusungu bwange n’ekiruyi kyange bijja kufukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo, ku miti egy’omu ttale era ne ku bibala eby’omu ttaka; bujja kubuubuuka era tebujja kukoma.”
Read full chapter
Yeremiya 15:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Ndibafuula abasibe b’abalabe bammwe
mu ggwanga lye mutamanyi,
kubanga obusungu bwange bwakukoleeza omuliro
ogunaabookya gubamalewo.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.