Add parallel Print Page Options

43 (A)Alooni ne batabani be banaazambalanga nga bajja mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu oba bwe banaasembereranga Ekyoto okuweereza mu Kifo Ekitukuvu, baleme okwereetako omusango ne bafa.

“Alooni ne batabani be ne bazzukulu be abalimuddirira banaakuumanga etteeka lino nga lya nkalakkalira.”

Read full chapter

Eggigi

31 (A)“Okole eggigi mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa; era omukozi omukugu atungiremu bakerubi.

Read full chapter

33 (A)Eggigi olinyweze n’ebikwaso; olyoke otereeze Essanduuko ey’Endagaano munda waalyo. Eggigi liryoke lyawule Ekifo Ekitukuvu n’Ekifo Ekitukuvu Ennyo.[a]

Read full chapter

Footnotes

  1. 26:33 Ekifo Ekitukuvu Ennyo Kabona Asinga Obukulu yekka ye yakkirizibwanga okuyingira mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, omulundi gumu gwokka mu mwaka, era lwe lunaku olw’okutangiririrako

37 (A)“Era ekikondo kikolere ettaala musanvu; ettaala zino nga zaakira mu maaso gaakyo.

Read full chapter

Era Alooni bw’anajjanga okukoleeza ettaala akawungeezi, anyookezenga obubaane mu maaso ga Mukama mu mirembe gyammwe gyonna.

Read full chapter

(A)Ettabaaza[a] ya Katonda yali tennazikira nga ne Samwiri yeebase mu yeekaalu[b] ya Mukama ng’aliraanye essanduuko ya Katonda we yali.

Read full chapter

Footnotes

  1. 3:3 Ettabaaza ya Katonda mu kifo ekitukuvu yali eteekeddwa okwaka ekiro kyonna (Kuv 27:20-21; 30:7-8). Noolwekyo okwolesebwa okwo kwaliwo mu ssaawa ez’oku makya ennyo, ng’enjuba tennavaayo
  2. 3:3 eyogerwako wano ye Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu

11 (A)Buli nkya na buli kawungeezi bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’obubaane obwa kawoowo eri Mukama, ne bategeka n’emigaati egy’okulaga ku mmeeza eya zaabu omwereere, ne bakoleeza n’ettaala eziri ku bikondo ebya zaabu buli kawungeezi. Tugondera Mukama Katonda waffe nga tukola bye yatukuutira, naye mmwe mwamuvaako.

Read full chapter

(A)obasibeko emisipi, obambaze n’enkuufiira; olwo nga bafuuka bakabona emirembe gyonna ng’ekiragiro bwe kigamba. Bw’otyo bw’onooyawula Alooni ne batabani be.

Read full chapter

17 (A)“ ‘Ekintu kino kinaabeeranga etteeka ery’ebiro byonna okuyita mu mirembe eginaagendanga giddiriragana mu bifo byonna gye munaabeeranga. Temulyanga masavu wadde omusaayi.’ ”

Read full chapter

34 (A)“Etteeka eryo linaababeereranga lya mirembe gyonna, ng’okutangiririra okwo kukolebwa omulundi gumu buli mwaka olw’ebyonoono byonna eby’abaana ba Isirayiri.”

Awo byonna ne bikolebwa nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Read full chapter

23 (A)Abaleevi be banaakolanga emirimu egy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, era be baneetikkanga obuvunaanyizibwa bwe banaakolerangayo ebibi. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja. Tebaafunenga byabusika mu baana ba Isirayiri.

Read full chapter

21 Eryo linaabanga tteeka lyabwe lya mirembe gyonna. Oyo anaamansiranga amazzi ag’obulongoofu, naye anaayozanga engoye ze, n’oyo anaakwatanga ku mazzi ag’okulongoosa anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.

Read full chapter