Add parallel Print Page Options

24 (A)Batabani ba Laakeeri ye:

Yusufu ne Benyamini.

Read full chapter

(A)Era bino bye bifa ku lulyo lwa Yakobo:

Yusufu bwe yali nga wa myaka kkumi na musanvu ng’ali ne baganda be batabani ba Biira ne Zirifa, nga balunda ekisibo ky’endiga, Yusufu n’ategeezanga Yakobo kitaabwe ebintu ebibi bye baakolanga.

Read full chapter

Yusufu ne Muka Potifali

39 (A)Awo Yusufu bwe yatwalibwa e Misiri, Potifali omukungu wa Falaawo, omukulu w’abambowa Omumisiri n’amugula okuva ku Bayisimayiri abaamutwala e Misiri.

Read full chapter

22 (A)Yusufu lye ttabi eribala ennyo,
    ettabi eribala ennyo eriri ku mugga;
    abaana be babuna bbugwe.
23 (B)Abalasa obusaale baamulumba bubi nnyo,
    baamulasa ne bamulumya nnyo;
24 (C)naye omutego gwe ne gunywera,
    n’emikono gye ne gitasagaasagana.
Olw’omukono gwa Ayinzabyonna owa Yakobo,
    olw’Omusumba, Olwazi lwa Isirayiri,
25 (D)olwa Katonda wa kitaawo, akuyamba,
    olwa Ayinzabyonna akuwa omukisa,
omukisa oguva waggulu mu ggulu,
    omukisa ogwa wansi mu buziba,
    omukisa ogw’omu lubuto ne mu mabeere.
26 (E)Omukisa gwa kitaawo
    gusinga omukisa gwa bajjajjange,
    gusinga egyo egyaweebwa bajjajja ab’edda.
Gino gyonna gibeere ku mutwe gwa Yusufu,
    gibeere ne ku bukowekowe bw’oyo eyayawukanyizibwa ne baganda be.

Read full chapter

17 (A)Bwe yali ng’alumwa bw’atyo omuzaalisa n’amugamba nti, “Totya kubanga kaakano onoofuna omwana omulala owoobulenzi.”

Read full chapter