Olubereberye 49:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Yuda, mwana w’empologoma.
Oyambuse mwana wange, ng’ovudde ku muyiggo.
Yakutama, yabwama ng’empologoma.
Ddala ng’empologoma enkazi, ani anaakweŋŋanga?
Isaaya 11:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ettabi Eririva ku Yese
11 (A)Ensibuka erimera ng’eva ku kikonge kya Yese,
ne ku mirandira kulivaako omuti, ne ku muti kulivaako Ettabi eriribala ekibala.
Isaaya 11:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Awo ku lunaku luli, muzzukulu wa Yese aliyimirira ng’ebendera eri amawanga. Oyo amawanga gwe ganaanoonyanga, n’ekifo kye eky’okuwummuliramu, kiribeera kya kitiibwa.
Read full chapter
Abaruumi 15:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Ne Nnabbi Isaaya agamba nate nti,
“Walibaawo muzzukulu wa Yese alijja
era alisituka okufuga Abaamawanga,
era mu ye mwe muliba essuubi lyabwe.”
Okubikkulirwa 22:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)“Nze Yesu, ow’omu kikolo era ow’omu lulyo lwa Dawudi, ntumye malayika wange gye muli okubuulira Ekkanisa ebigambo bino. Nze Mmunyeenye eyaka ey’Enkya.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.