Add parallel Print Page Options

(A)Bwe baatuuka n’abagamba nti, “Ndaba nga kitammwe takyanfaako nga bwe yakolanga olubereberye, naye Katonda wa kitange abadde nange.

Read full chapter

15 (A)Katonda n’ayongera n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Mukama, Katonda wa bajjajjammwe: Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era nga ye Katonda wa Yakobo, y’antumye gye muli.’

“Eryo lye linnya lyange ery’olubeerera,
    era lye linnya lye nnajjuukirirwangako
    mu buli mulembe ogunaddiriranga gunnaagwo.

Read full chapter

17 Dawudi n’afuluma okubasisinkana, n’abagamba nti, “Bwe muba muzze gye ndi mu mirembe, okunyamba, ndimwetegefu okubasembeza. Naye obanga muzze okundyamu olukwe eri abalabe bange, ate nga sirina musango, Katonda wa bajjajjaffe akirabe era abanenye.”

Read full chapter

13 (A)Naye mujjukire nti nze Mukama Katonda ow’Eggye, nze Mutukuvu,
    nze gwe muba mutya,
    era gwe muba mwekengera.

Read full chapter

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.

124 (A)Isirayiri agamba nti,
    singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,
singa Katonda teyali ku ludda lwaffe
    abalabe baffe bwe baatulumba,

Read full chapter

32 (A)Leeya n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi. N’amutuuma erinnya Lewubeeni, ng’agamba nti, “Kubanga Mukama alabye okubonyaabonyezebwa kwange: ddala baze ananjagala.”

Read full chapter