Oluyimba 2:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Owoomukwano
14 (A)Ggwe ejjiba lyange, eribeera mu njatika ez’omu njazi,
mu bwekwekero obw’amayinja,
ndaga amaaso go,
ka mpulire eddoboozi lyo,
kubanga eddoboozi lyo ddungi nnyo,
n’amaaso go gasanyusa.
Oluyimba 4:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Emimwa gyo giri ng’ewuzi ey’olugoye olutwakaavu;
n’akamwa ko kandabikira bulungi.
Amatama go mu lugoye lw’ogabisseeko
gali ng’ekitundu ky’ekkomamawanga.[a]
Footnotes
- 4:3 Amakomamawanga mamyufu
Oluyimba 2:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira,
ng’empeewo n’enjaza ez’omu ttale,
temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala
okutuusa nga kweyagalidde.
Oluyimba 5:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Mmwe abawala ba Yerusaalemi,
mbakuutira nti bwe mulaba ku muganzi wange,
mumutegeeze ng’okwagala kwange
gy’ali bwe kunzita.
Oluyimba 5:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Enjogera ye mpomerevu,
weewaawo awamu n’ebyo byonna ayagalibwa.
Ono ye muganzi wange, ye mukwano gwange;
mmwe abawala ba Yerusaalemi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.