Add parallel Print Page Options

(A)Ng’olabika bulungi wenna, omwagalwa wange,
    toliiko bbala na limu.

Read full chapter

Owoomukwano

14 (A)Ggwe ejjiba lyange, eribeera mu njatika ez’omu njazi,
    mu bwekwekero obw’amayinja,
ndaga amaaso go,
    ka mpulire eddoboozi lyo,
kubanga eddoboozi lyo ddungi nnyo,
    n’amaaso go gasanyusa.

Read full chapter

Owoomukwano

(A)Ng’olabika bulungi, gwe njagala, laba ondabikidde bulungi.
    Amaaso go mayiba mu lugoye mw’ogabisse.
Enviiri zo ziri ng’eggana ly’embuzi
    eziserengeta okuva ku lusozi Gireyaadi.

Read full chapter

Omwagalwa

(A)Nnali ngalamidde, ng’omutima gwange guwulira.
    Ne mpulira muganzi wange ng’akonkona, n’ayogera nti,
“Nziguliraawo mwannyinaze, Owoomukwano, ejjiba lyange,
    owe wange ataliiko bbala,
kubanga omutwe gwange gutobye omusulo,
    n’enviiri zange zibisiwadde olw’obunnyogovu.”

Read full chapter

12 (A)Amaaso ge gali ng’amayiba
    ku mabbali g’emigga egy’amazzi,
agaanaazibwa n’amata,
    ne gaba ng’amayinja ag’omuwendo omungi.

Read full chapter

(A)ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ow’enjawulo,
    mwana muwala eyazaalibwa yekka, ayagalibwa ennyo nnyina
    okusinga abalala, y’ansingira mu bonna.
Abawala baamulaba ne bamuyita wa mukisa;
    bakabaka abakazi n’abazaana baamutenda.

Read full chapter