Add parallel Print Page Options

(A)Ne baganda bo n’ab’omu nnyumba ya kitaawo
    nabo bennyini bakwefuukidde,
    beegasse ku abo abawowoggana nga bakulangiriza.
Tobeesiga
    wadde nga bakwogerako bulungi.”

Read full chapter

Naye nga Yeremiya ya kamaliriza okubuulira abantu bonna ebintu byonna Mukama bye yali amulagidde okwogera, bakabona ne bannabbi, n’abantu bonna ne bamukwata ne bagamba nti, “Oteekwa okufa!

Read full chapter

11 (A)Awo bakabona ne bannabbi ne bagamba abakungu n’abantu bonna nti, “Omusajja ono asaana kusalirwa musango gwa kufa kubanga ayogedde ebyobunnabbi ebibi ku kibuga kino. Mukiwulidde n’amatu gammwe gennyini.”

Read full chapter

(A)Awo abakungu ne bagamba kabaka nti, “Omusajja ono asaana kuttibwa. Amalamu abaserikale abasigadde mu kibuga amaanyi, era n’abantu bonna, olw’ebintu by’abagamba. Omuntu ono tanoonya bulungi bw’abantu naye kuzikirizibwa kwabwe.”

Read full chapter