Add parallel Print Page Options

14 (A)Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba mu linnya lyange, sibatumanga wadde okubalagira okwogera nabo. Babategeeza okwolesebwa okw’obulimba n’obunnabbi obutaliimu, n’obutaliimu bw’emitima gyabwe.

Read full chapter

23 (A)ky’oliva olemwa okulaba okwolesebwa okukyamu wadde okufuna okubikkulirwa. Ndiwonya abantu bange okuva mu mikono gyo, olyokye omanye nga nze Mukama Katonda.’ ”

Read full chapter

(A)“Ku lunaku olwo, ndiggya amannya ga bakatonda abalala okuva mu nsi, galeme kuddayo kujjukirwa, era nzigye bannabbi n’omwoyo ogutali mulongoofu mu nsi,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. (B)Era singa omuntu yenna awa obunnabbi, kitaawe ne nnyina abamuzaala bennyini balimugamba nti, “Oteekwa kufa kubanga oyogedde eby’obulimba mu linnya lya Mukama.” Bw’aliwa obunnabbi, bakadde be bennyini bamufumitanga.

(C)“Ku lunaku olwo buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olw’okwolesebwa kwe okw’obulimba; era tebalyambala kyambalo kyabwe eky’ebyoya okulimba abantu.

Read full chapter