Add parallel Print Page Options

18 (A)“Mikka ow’e Moreseesi yawa obunnabbi mu nnaku za Keezeekiya kabaka wa Yuda. Yagamba abantu bonna aba Yuda nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“ ‘Sayuuni ajja kulimibwa ng’ennimiro,
    Yerusaalemi ajja kufuuka ntuumu ya mafunfugu,
    olusozi lwa yeekaalu, lufuuke akasozi akamezeeko ebisaka.’ 

Read full chapter

12 (A)Amaziya nga ye mutabani wa Yowaasi,

ne Azaliya nga ye mutabani wa Amaziya,

ne Yosamu nga ye mutabani wa Azaliya.

Read full chapter

13 (A)Akazi yali mutabani wa Yosamu,

ne Keezeekiya nga ye mutabani wa Akazi,

ne Manase nga ye mutabani wa Keezeekiya.

Read full chapter

(A)Buno bwe bubaka bwa Mukama bwe yawa Koseya mutabani wa Beeri mu mulembe gwa Uzziya, n’ogwa Yosamu, n’ogwa Akazi n’ogwa Keezeekiya, nga be bakabaka ba Yuda, ne mu mulembe gwa Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi, nga ye kabaka wa Isirayiri.

Read full chapter

(A)Okwolesebwa kwa Isaaya, mutabani wa Amozi, kwe yafuna okukwata ku Yuda ne Yerusaalemi mu bufuzi bwa Uzziya, ne Yosamu, ne Akazi ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda.

Read full chapter