Add parallel Print Page Options

43 (A)Era nate ennimiro zirigulwa mu ggwanga lino lye mugamba nti, ‘Lifuuse matongo agatagambika, omutali bantu wadde ensolo kubanga kiweereddwayo eri Abakaludaaya.’ 44 (B)Ennimiro zirigulibwa ffeeza, era n’ebiwandiiko eby’obwannannyini biteekebweko omukono, bisabikibwe era bifune n’ababijulira mu Benyamini, ne mu byalo ebyetoolodde Yerusaalemi, ne mu bibuga bya Yuda ne mu bibuga ebyetoolodde Yerusaalemi, ne mu byalo bya Yuda ne mu bibuga eby’omu nsi ey’ensozi, ne mu bibuga eby’omu nsenyi ne mu bibuga eby’omu bukiikaddyo, kubanga ndikomyawo okukulaakulana kwabwe, bw’ayogera Mukama.”

Read full chapter

18 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“ ‘Ndizzaawo eby’obugagga by’eweema za Yakobo
    era mbeere n’ekisa ku kifo kyammwe kye mwabeerangamu.
Ekibuga kirizimbibwa awaali amatongo gaakyo,
    n’olubiri luzzibwe mu kifo kyalwo ekituufu.

Read full chapter

14 (A)Ndikomyawo abantu bange Isirayiri okuva mu buwaŋŋanguse,
    ne bazimba nate ebibuga ebyamenyebwa, babibeeremu.
Balisimba ennimiro zaabwe ez’emizabbibu ne banywa wayini avaamu,
    era balisimba ennimiro balye ebibala byamu.
15 (B)Ndisimba Isirayiri mu nsi yaabwe,
    era tebaliggibwa nate
    mu nsi gye nabawa,”

bw’ayogera Mukama Katonda wammwe.

Read full chapter