Add parallel Print Page Options

29 (A)Ensi ekankana ne yeenyola olw’obulumi,
    kubanga ebigendererwa bya Mukama eri Babulooni tebikyuka,
okuzikiriza ensi ya Babulooni
    waleme kubaawo agibeeramu.

Read full chapter

62 (A)Olwo ogambe nti, ‘Ayi Mukama, ogambye nti olizikiriza ekifo kino, nti tewali nsolo oba muntu alikibeeramu; kibeere matongo emirembe gyonna.’

Read full chapter

20 (A)Tekiriddamu kusulwamu ennaku zonna,
    so tekiribeerwamu emirembe n’emirembe,
so teri Muwalabu alisimbayo weema ye,
    teri musumba aligalamizaayo ggana lye kuwummulirayo.

Read full chapter

(A)Ne batagamba nako nti; “Ali ludda wa Mukama eyatuggya mu nsi y’e Misiri;
    eyatuyisa mu lukoola,
mu nsi ey’amalungu n’obunnya, mu nsi enkalu n’ekisiikirize eky’okufa,
    mu nsi omutali muntu n’omu, so n’omuntu yenna mw’atayinza kuyita?”

Read full chapter