Add parallel Print Page Options

23 (A)“Era ndimufuula obutaka bw’ebiwuugulu,
    n’entobazzi
era mwere n’olweyo oluzikiriza,”
    bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

Read full chapter

10 (A)Talizikizibwa emisana n’ekiro,
    n’omukka gwe gulinyooka ennaku zonna.
Edomu alisigala kifulukwa emirembe n’emirembe,
    era tewaliba n’omu ayita mu nsi eyo.
11 (B)Ekiwuugulu eky’omu ddungu n’ekiwuugulu ekireekaana, birikibeeramu.
    Ekiwuugulu ekinene ne namuŋŋoona birizimbamu ebisu byabyo.
Katonda aligololera ekipimo eky’okwewunika,
    n’ekipimo ekinaaleka Edomu nga njereere.
12 (C)Abakungu be tebalibaako kye bayita bwakabaka,
    n’abalangira be bonna baliggwaawo.
13 (D)Amaggwa galimera ku minaala egy’ekibuga kye,
    n’emyennyango n’amatovu ne bimera mu bigo bye ebyanywezebwa.
Aliyiggibwa ebibe,
    era ebiwuugulu birimufuula ekifo eky’okuwummulirangamu.
14 (E)Ensolo ez’omu ddungu gye zirisisinkana empisi,
    n’embuzi enkambwe ez’omu nsiko gye ziriramusiganyiza.
Era eyo ebisolo ebitambula ekiro nabyo biriwummula
    nga byefunidde ekifo eky’okuwummulirangamu.
15 (F)Ekiwuugulu kiribiikira eyo amagi,
    ne kigaalula,
ne kirabirira abaana baakyo wansi w’ekisiikirize kyakyo.
    Era eyo ne kamunye gy’alikuŋŋaanira, empanga n’enseera.

Read full chapter

11 (A)Abamu ku Bafirisuuti ne baleetera Yekosafaati ebirabo, ne ffeeza ng’omusolo, ate Abawalabu ne bamuleetera ebisibo eby’endiga ennume kasanvu mu lusanvu, n’embuzi kasanvu mu lusanvu.

Read full chapter