Add parallel Print Page Options

14 (A)Naye buli anywa ku mazzi nze ge ndimuwa, talirumwa nnyonta emirembe gyonna era galifuuka mu ye ensulo etekalira, ne gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”

Read full chapter

Ensulo z’Amazzi amalamu

37 (A)Awo ku lunaku olw’embaga olusembayo, olusingira ddala obukulu, Yesu n’ayimirira n’ayogera n’eddoboozi ery’omwanguka n’agamba nti, “Buli alina ennyonta, ajje gye ndi anywe!

Read full chapter

(A)Tusasulira amazzi ge tunywa;
    n’enku tuteekwa okuzigula.

Read full chapter

44 (A)“Obwakabaka obw’omu ggulu bufaanana n’ekyobugagga ekyakwekebwa[a] mu nnimiro omuntu omu bwe yakigwikiriza. Olw’essanyu lye yafuna n’agenda n’atunda bye yalina byonna, n’agula ennimiro eyo.

Read full chapter

Footnotes

  1. 13:44 Mu biro ebyo eby’obugagga byakwekebwanga mu ttaka, kubanga tewaalingawo bbanka, newaakubadde nga waaliwo abawola ensimbi

18 (A)Nkuwa amagezi onguleko ebya zaabu, eyalongoosebwa mu muliro, olyoke ogaggawale. Era onguleko ebyambalo ebyeru, obyambale, owone ensonyi ez’okuyita obwereere; onguleko n’omuzigo osiige ku maaso go, osobole okulaba.

Read full chapter

Owoomukwano

(A)Nzize mu nnimiro yange mwannyinaze, omugole wange;
    nkuŋŋaanyiza mooli yange n’eby’akawoowo byange.
Ndidde ebisenge byange eby’omubisi gw’enjuki gwange ne nywa n’omubisi gwange,
    Nywedde wayini wange n’amata gange.

Abemikwano

Abemikwano mulye munywe, munywere ddala, mmwe abaagalana.

Read full chapter

(A)Ndibalekesaayo empisa zaabwe embi,
    ne mbaagala awatali kye mbasalidde kya kusasula.
    Kubanga obusungu bwange butanudde okubavaako.

Read full chapter

Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, mulongoose abagenge, era mugobe ne baddayimooni. Muweereddwa buwa nammwe muwenga buwa.

Read full chapter

(A)N’aŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ez’amazzi amalamu, ag’obuwa.

Read full chapter