Add parallel Print Page Options

Omugabo gwa Manase

17 (A)Omugabo ne guweebwa ekika kya Manase kubanga ye yali omubereberye owa Yusufu. Makiri omubereberye wa Manase era kitaawe wa Gireyaadi yaweebwa Gireyaadi ne Basani, era yali mulwanyi muzira. (B)Era emigabo ne giweeba abaana ba Manase abalala nga bwe baali bazaalibwa mu buli maka. Omugabo gw’abaana ba Abiyezeeri, n’ogw’abaana ba Kereki n’abaana ba Asuliyeri n’ogw’abaana ba Sekemu, n’ogw’abaana ba Keferi, n’ogw’abaana ba Semida be baana bonna aboobulenzi aba Manase omwana wa Yusufu ng’amaka mwe baazaalibwa bwe gaali.

(C)Naye Zerofekadi mutabani wa Keferi mutabani wa Gireyaadi mutabani wa Manase teyazaala baana balenzi wabula bawala bokka era baali bayitibwa Maala ne Noowa, ne Kogula, ne Mirika ne Tiruza. (D)Bano baagenda eri Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuuni n’abakulu ne babagamba nti, “Mukama yalagira Musa okutuwa omugabo nga baganda baffe.” Yoswa kyeyava abawa ettaka nga Mukama bwe yalagira. Yabawa omugabo mu baganda bakitaabwe. Bw’atyo Manase n’afuna ebitundu kkumi ng’oggyeko ensi ya Gireyaadi ne Basani ebiri emitala wa Yoludaani, kubanga abaana ba Manase abawala baafuna omugabo ng’abaana be abalenzi. Ensi ya Gireyaadi yaweebwa abaana ba Manase abaali basigaddewo ne bagitwala.

(E)N’ensalo ya Manase yava ku Aseri n’etuuka ku Mikumesasi ebuvanjuba bwa Sekemu, n’eyita ku bukiikaddyo n’ekka n’etwaliramu abantu abaali mu Entappua. (F)Ensi ya Tappua Manase n’agitwala wabula Tappua ekibuga ekyali ku nsalo ya Manase abaana ba Efulayimu be baakigabana. (G)Ensalo n’ekka n’etuuka ku kagga Kana ku luuyi mu bukiikakkono obw’omugga. Bino bye bibuga bya Efulayimu ebiri mu bibuga bya Manase, naye ensalo ya Manase yali mu bukiikakkono obwa kagga n’ekoma ku nnyanja. 10 (H)Efulayimu n’atwala oluuyi olw’omu bukiikaddyo ne Manase n’atwala oluuyi olw’omu bukiikakkono n’ensalo ye n’ekoma ku nnyanja mu bukiikakkono n’etuuka ku Aseri ate ebuvanjuba n’etuuka ku Isakaali.

11 (I)Mu nsi ya Isakaali n’eya Aseri, Manase n’atwala Besuseani n’ebibuga byakyo ne Ibuleamu n’ebibuga byakyo n’abaali mu Endoli n’ebibuga byakyo n’abaali mu Doli n’abaali mu Taanaki n’ebibuga byakyo, n’abaali mu Megiddo n’ebibuga byakyo z’ensozi essatu.

12 (J)Naye abaana ba Manase tebasobola kugobamu Bakanani kubanga baali bamaliridde okusigala mu nsi eyo. 13 (K)Naye abaana ba Isirayiri bwe beeyongera amaanyi ne bafuula Abakanani abaddu baabwe ab’okubakozesanga emirimu, ne batabeegoberako ddala.

Okwemulugunya kw’Abaana ba Yusufu

14 (L)Abaana ba Yusufu[a] ne boogera ne Yoswa nti, “Lwaki ffe otuwadde omugabo gumu n’ekitundu kimu ate nga tuli kika kinene? Mukama atuwadde nnyo omukisa.” 15 (M)Yoswa n’abagamba nti, “Obanga muli kika kinene mugende mu nsi y’Abaperezi n’ey’Abalefa mwesaayire ekibira, ensi ey’ensozi eya Efulayimu nga bwe tebamala.” 16 (N)Abaana ba Yusufu ne bagamba nti, “Ensi ey’ensozi tetumala; ate nga Abakanani bonna abali mu nsi ey’ekiwonvu n’abali mu Besuseani n’ebibuga byakyo era n’abali mu kiwonvu eky’e Yezuleeri balina amagaali ag’ebyuma.”

17 Yoswa n’ayogera eri ennyumba ya Yusufu, n’eya Efulayimu n’eya Manase nti, “Muli kika kinene era mulina amaanyi mangi temuliba na mugabo gumu gwokka, 18 (O)naye ensi ey’ensozi eribeera yammwe, newaakubadde nga ya kibira mulikisaawa okutuuka gye kikoma, kubanga muligobamu Abakanani newaakubadde nga balina amagaali ag’ebyuma era nga baamaanyi.”

Footnotes

  1. 17:14 Abaana ba Yusufu aboogerebwako wano b’ebika bya Efulayimu ne Manase.

17 This was the allotment for the tribe of Manasseh(A) as Joseph’s firstborn,(B) that is, for Makir,(C) Manasseh’s firstborn. Makir was the ancestor of the Gileadites, who had received Gilead(D) and Bashan(E) because the Makirites were great soldiers. So this allotment was for the rest of the people of Manasseh(F)—the clans of Abiezer,(G) Helek, Asriel,(H) Shechem, Hepher(I) and Shemida.(J) These are the other male descendants of Manasseh son of Joseph by their clans.

Now Zelophehad son of Hepher,(K) the son of Gilead, the son of Makir, the son of Manasseh, had no sons but only daughters,(L) whose names were Mahlah, Noah, Hoglah, Milkah and Tirzah. They went to Eleazar the priest, Joshua son of Nun, and the leaders and said, “The Lord commanded Moses to give us an inheritance among our relatives.” So Joshua gave them an inheritance along with the brothers of their father, according to the Lord’s command.(M) Manasseh’s share consisted of ten tracts of land besides Gilead and Bashan east of the Jordan,(N) because the daughters of the tribe of Manasseh received an inheritance among the sons. The land of Gilead belonged to the rest of the descendants of Manasseh.

The territory of Manasseh extended from Asher(O) to Mikmethath(P) east of Shechem.(Q) The boundary ran southward from there to include the people living at En Tappuah. (Manasseh had the land of Tappuah, but Tappuah(R) itself, on the boundary of Manasseh, belonged to the Ephraimites.) Then the boundary continued south to the Kanah Ravine.(S) There were towns belonging to Ephraim lying among the towns of Manasseh, but the boundary of Manasseh was the northern side of the ravine and ended at the Mediterranean Sea. 10 On the south the land belonged to Ephraim, on the north to Manasseh. The territory of Manasseh reached the Mediterranean Sea and bordered Asher(T) on the north and Issachar(U) on the east.(V)

11 Within Issachar(W) and Asher, Manasseh also had Beth Shan,(X) Ibleam(Y) and the people of Dor,(Z) Endor,(AA) Taanach(AB) and Megiddo,(AC) together with their surrounding settlements (the third in the list is Naphoth[a]).(AD)

12 Yet the Manassites were not able(AE) to occupy these towns, for the Canaanites were determined to live in that region. 13 However, when the Israelites grew stronger, they subjected the Canaanites to forced labor but did not drive them out completely.(AF)

14 The people of Joseph said to Joshua, “Why have you given us only one allotment and one portion for an inheritance? We are a numerous people, and the Lord has blessed us abundantly.”(AG)

15 “If you are so numerous,” Joshua answered, “and if the hill country of Ephraim is too small for you, go up into the forest(AH) and clear land for yourselves there in the land of the Perizzites(AI) and Rephaites.(AJ)

16 The people of Joseph replied, “The hill country is not enough for us, and all the Canaanites who live in the plain have chariots fitted with iron,(AK) both those in Beth Shan(AL) and its settlements and those in the Valley of Jezreel.”(AM)

17 But Joshua said to the tribes of Joseph—to Ephraim and Manasseh—“You are numerous and very powerful. You will have not only one allotment(AN) 18 but the forested hill country(AO) as well. Clear it, and its farthest limits will be yours; though the Canaanites have chariots fitted with iron(AP) and though they are strong, you can drive them out.”

Footnotes

  1. Joshua 17:11 That is, Naphoth Dor