Add parallel Print Page Options

24 (A)Ebyo byabaawo abantu b’omu nsi yonna bategeere ng’omukono gwa Mukama gwa maanyi era nammwe mulyoke mutye Mukama Katonda wammwe emirembe gyonna.”

Read full chapter

46 (A)Olwa leero Mukama anaakuwaayo mu mukono gwange, ne nkukuba era ne nkusalako omutwe. Olwa leero nnaagabira emirambo egy’eggye ery’Abafirisuuti eri ebinyonyi eby’omu bbanga n’eri ensolo enkambwe ez’ensi, ensi yonna eryoke etegeere nga waliwo Katonda mu Isirayiri.

Read full chapter

35 (A)“Walagibwa ebintu ebyo byonna olyoke otegeere nga Mukama ye Katonda; era nga awatali ye tewali mulala.

Read full chapter

39 (A)Awo abantu bonna bwe baakiraba, ne bavuunama ne bakaaba nnyo nga bagamba nti, “Mukama, ye Katonda! Mukama, ye Katonda!”

Read full chapter

10 (A)Naye Mukama ye Katonda ddala, ye Katonda omulamu,
    era Kabaka ow’emirembe gyonna.
Bw’asunguwala, ensi ekankana,
    amawanga tegasobola kugumira busungu bwe.

Katonda Omulamu ne Bakatonda Abataliimu

11 (B)“Bw’oti bw’oba obagamba nti, ‘Bakatonda abataakola ggulu na nsi ba kuzikirira bave ku nsi ne wansi w’eggulu.’ ”

12 (C)Mukama yakola ensi n’amaanyi ge,
    n’atonda ebitonde byonna n’amagezi ge,
    era okutegeera kwe, kwe kwayanjuluza eggulu.

Read full chapter