Add parallel Print Page Options

12 (A)Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama,
    babeere ng’ebisimbe ebikulidde ddala obulungi,
ne bawala baffe babe ng’empagi ennungi ez’oku nsonda
    okuzimbirwa ennyumba ya kabaka mu lubiri.

Read full chapter

(A)Ensingo yo eri ng’omulongooti gwa Dawudi,
    ogwatereezebwa obulungi;
ne ku gwo nga kuliko engabo lukumi,
    zonna nga ngabo z’abasajja abalwanyi.

Read full chapter

26 (A)Kesuboni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sikoni Kabaka w’Abamoli kye yali awambye ng’amaze okulwana n’eyali kabaka wa Mowaabu n’amuggyako ensi ye yonna okutuuka ku Alunoni.

Read full chapter

15 (A)Amagulu ge gali ng’empagi ez’amayinja aganyirira
    ezisimbibwa mu zaabu ennungi.
Mu ndabika afaanana Lebanooni
    omulungi ng’emivule gyayo.

Read full chapter