Add parallel Print Page Options

(A)Ssaddaaka n’ebiweebwayo tewabyagala.
    Ebiweebwayo ebyokebwa olw’okutangirira ebibi,
tobyetaaga.
    Naye onzigudde amatu.
Kyenava njogera nti, “Nzuuno,
    nzize nga bwe kyampandiikibwako mu muzingo gw’ekitabo.”
(B)Nsanyukira okukola ky’oyagala, Ayi Katonda wange,
    kubanga amateeka go gali mu mutima gwange.

Read full chapter

16 (A)Tosanyukira ssaddaaka, nandigikuleetedde;
    n’ebiweebwayo ebyokebwa tobisanyukira.

Read full chapter

11 (A)“Ssaddaaka enkumu ze munsalira
    zingasa ki?
Nkooye endiga ennume
    enjokye eziweebwayo,
so sisanyukira musaayi gwa nte,
    newaakubadde ogw’abaana b’endiga, newaakubadde ogw’embuzi ennume,” bw’ayogera Mukama.
12 (B)Bwe mujja mu maaso gange,
    ani aba abayise
    ne mujja okulinnyirira empya zange?
13 (C)Mulekeraawo okuleeta ssaddaaka zammwe ezitaliimu;
    obubaane bwammwe bwa muzizo gye ndi.
Omwezi Ogubonese ne Ssabbiiti n’enkuŋŋaana zammwe
    zijjudde obutali butuukirivu.
14 (D)Emyezi gyammwe Egibonese n’embaga zammwe ez’ennaku entukuvu,
    emmeeme yange ebikyaye,
binfuukidde omugugu,
    nkooye okubigumiikiriza.
15 (E)Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe
    nnaabakwekanga amaaso gange,
era ne bwe munaasabanga ennyo
    siiwulirenga
kubanga emikono gyammwe gisaabaanye omusaayi.

Read full chapter

22 (A)Kubanga ku lunaku lwe nabaggya mu Misiri saayogera eri bakitammwe wadde okubalagira ebikwata ku biweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka.

Read full chapter

(A)Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka,
    era n’okumanya Katonda, okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.

Read full chapter

(A)Mwebuuza nti kiki kye nnaaleeta mu maaso ga Mukama
    nvuuname mu maaso ga Katonda agulumizibwa?
Mmusemberere n’ebiweebwayo ebyokebwa,
    n’ennyana ezaakamala omwaka ogumu?
(B)Mukama alisiima endiga eza sseddume olukumi,
    oba emitwalo gy’emigga gy’amafuta?
Mpeeyo omwana wange omubereberye olw’ebibi byange,
    nga mpaayo ekibala ky’omubiri gwange olw’ekibi eky’emmeeme yange?
(C)Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola.
    Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza,
okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa
    era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.

Read full chapter

(A)Naye singa mumanyi amakulu ga kino nti, ‘Njagala mubeerenga ba kisa okusinga okuwangayo ssaddaaka,’ temwandinenyezza bataliiko musango.

Read full chapter

33 (A)Era mmanyi nga kikulu nnyo okumwagala n’omutima gwaffe gwonna, n’okutegeera kwaffe n’amaanyi gaffe, n’okwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka, era ng’ekyo kikulu okusinga ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka.”

Read full chapter

Ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’ekibi,
    tewabisiima.
(A)Kyennava njogera nti, ‘Nzuno, nga bwe kyawandiikibwa mu mizingo gy’ebyawandiikibwa:
    Nzize okukola by’oyagala, ng’Ebyawandiikibwa bwe binjogerako.’ ”

(B)Nga bwe kyogera waggulu nti, Ssaddaaka n’ebiweebwayo, n’ebiweebwayo ebiramba ebyokebwa, n’ebiweebwayo olw’ebibi tewabyagala so tewabisiima, so nga biweebwayo ng’amateeka bwe galagira, (C)n’alyoka agamba nti, “Nzuuno nzize okukola by’oyagala.” Noolwekyo aggyawo enkola esooka alyoke anyweze enkola eyookubiri.

Read full chapter