Add parallel Print Page Options

(A)Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa,
    afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi.

Read full chapter

18 (A)“Olunaku luli bwe lulituuka, ensozi ziritonnyesa wayini omuggya,
    n’obusozi bulikulukusa amata,
    n’emigga gyonna egya Yuda emikalu girikulukusa amazzi.
Ensulo eriva mu nnyumba ya Mukama
    n’efukirira ekiwonvu kya Sittimu.

Read full chapter

11 (A)Obwesigwa bulose mu nsi,
    n’obutukuvu ne butunuulira ensi nga businzira mu ggulu.

Read full chapter

21 (A)Abantu bo babeere batuukirivu,
    ensi ebeere yaabwe emirembe n’emirembe.
Ekisimbe kye nnesimbira;
    omulimu gw’emikono gyange,
    olw’okulaga ekitiibwa kyange.

Read full chapter

10 (A)Nsanyukira nnyo mu Mukama,
    emmeeme yange esanyukira mu Katonda wange.
Kubanga annyambazizza ebyambalo eby’obulokozi
    era n’anteekako n’omunagiro ogw’obutuukirivu,
ng’omugole omusajja bw’ayambala engule nga kabona,
    ng’omugole omukazi bw’ayambala amayinja ge ag’omuwendo.

Read full chapter

11 (A)Kuba nga ettaka bwe livaamu ebimera,
    era ng’ennimiro bwereetera ensigo okumeruka,
bw’atyo Mukama Katonda bwalireeta obutuukirivu n’ettendo okumeruka,
    ensi zonna zikirabe.

Read full chapter

12 (A)Musige ensigo ez’obutuukirivu,
    mukungule ebibala eby’okwagala okutaggwaawo;
mukabale ettaka lyammwe eritali ddime,
    kubanga ekiseera kituuse okunoonya Mukama,
okutuusa lw’alidda
    n’abafukako obutuukirivu.

Read full chapter

(A)Munaasenanga n’essanyu amazzi
    okuva mu nzizi ez’obulokozi.

Read full chapter