Add parallel Print Page Options

25 (A)Awo Zeddekiya nga yakafugira emyaka mwenda, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’eggye lye lyonna ne balumba Yerusaalemi ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi; ne basiisira ebweru waakyo, ne bakizimbako ebigo okukyetooloola. Awo ekibuga ne kizingizibwa okumala emyaka ebiri nga Zeddekiya y’akyali kabaka. (B)Ku lunaku olw’omwenda mu mwezi ogwokuna enjala n’eba nnyingi nnyo mu kibuga, abantu ab’omu nsi ne babulwako n’emmere ey’okulya. (C)Awo kabaka n’eggye lye lyonna abaali mu kibuga ne bawagula mu bbugwe ekituli, ekiro, ne badduka nga bayita mu mulyango ogwaliraananga ennimiro ya kabaka ne bayita ne ku Bakaludaaya abaali bazingizza ekibuga enjuuyi zonna. (D)Naye eggye ly’Abakaludaaya ne bagoberera kabaka, okutuusa lwe bamukwatira mu nsenyi ez’e Yeriko n’eggye lye lyonna ne lisaasaana okumwabulira. (E)Ne bawamba kabaka, ne bamuleeta eri kabaka w’e Babulooni e Libula gye yasalirwa omusango. (F)Ne battira batabani ba Zeddekiya mu maaso ge, ne bamuggyamu amaaso, ne bamuteeka mu masamba, n’atwalibwa e Babulooni.

Yerusaalemi ne Yeekaalu bisaanyizibwawo

Awo ku lunaku olw’omusanvu mu mwezi ogwokutaano mu mwaka ogw’ekkumi n’omwenda ogw’obwakabaka bwa Nebukadduneeza, kabaka w’e Babulooni, Nebuzaladaani omuduumizi ow’eggye lya kabaka ery’oku ntikko, ate nga mwami wa kabaka w’e Babulooni n’ajja mu Yerusaalemi. (G)N’ayokya yeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwa kabaka, n’ennyumba zonna na buli kizimbe ekikulu era nga kya muwendo mu Yerusaalemi. 10 (H)Awo eggye lyonna ery’Abakaludaaya nga bakulemberwa omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko, ne bamenya bbugwe wa Yerusaalemi. 11 (I)Nebuzaladaani omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’atwala abantu bonna abaali basigaddewo mu kibuga, mu buwaŋŋanguse nga basibe, n’abaali baasenga kabaka w’e Babulooni, n’abalala bonna abaali mu kibuga. 12 (J)Wabula yalekamu abaali basemberayo ddala obwavu mu nsi eyo, okulabiriranga emizabbibu n’okulimanga.

13 Abakaludaaya ne bamenyaamenya empagi ez’ebikomo n’ebyuma ebyawaniriranga ennyanja ey’ekikomo, n’ennyanja ey’ekikomo, ebyali mu yeekaalu ya Mukama, n’ebikomo byamu ne babitwala e Babulooni. 14 (K)Era baatwala n’entamu, n’ebisena, n’ebisalako ebisirinza, n’ebijiiko n’ebintu byonna eby’ekikomo ebyakozesebwanga mu yeekaalu. 15 Omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’atwala n’ebyoterezo wamu n’ebibya ebyali ebya zaabu n’ebyali ebya ffeeza.

16 Ekikomo ekyava mu mpagi ebbiri, ne mu nnyanja, ne mu byuma ebyawaniriranga ennyanja ey’ekikomo, Sulemaani bye yakolera yeekaalu ya Mukama, obuzito bwakyo nga tebumanyiddwa. 17 (L)Buli mpagi obugulumivu yali mita munaana ne desimoolo emu ne ku mutwe gwayo nga kuliko ekikomo ng’obugulumivu bwakyo mita emu ne desimoolo ssatu, nga kitoneddwatoneddwa n’ebifaananyi n’amakomamawanga ag’ekikomo okukyetooloola. N’empagi eyookubiri yali ekoleddwa mu ngeri y’emu.

18 (M)Omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’atwala nga basibe: Seraya kabona Asinga obukulu, n’omumyuka we Zeffaniya, n’abaggazi abasatu. 19 Era yatwala n’omukungu eyaduumiranga abasajja abalwanyi, n’abakungu abalala bataano abatuulanga ku lukiiko lwa kabaka; era n’atwala n’omuwandiisi omukulu eyavunaanyizibwanga okuyingizanga abantu mu magye mu nsi ya Yuda, n’abasajja abannansi nkaaga abaasangibwa mu kibuga. 20 Abo bonna Nebuzaladaani omuduumizi ow’eggye ery’oku ntikko n’abatwalira kabaka w’e Babulooni e Libula. 21 (N)Kabaka w’e Babulooni n’abattira eyo e Libula, mu nsi y’e Kamasi.

Bw’atyo Yuda n’atwalibwa mu buwaŋŋanguse nga musibe, okuva mu nsi ye.

22 (O)Awo Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alonda Gedaliya mutabani wa Akikamu, muzzukulu wa Safani okuba omukulembeze w’abo abaali basigaddewo mu Yuda. 23 Awo abakungu ab’eggye n’abasajja abalala bwe baawulira nga kabaka w’e Babulooni alonze Gedaliya okuba omukulembeze, ne bagenda eri Gedaliya e Mizupa. Abasajja abakungu abo baali Isimayiri mutabani wa Nesaniya, ne Yokanaani mutabani wa Kaleya, ne Seraya mutabani wa Tanukumesi Omunetofa, ne Yaazaniya mutabani w’Omumaakasi. 24 Gedaliya n’abalayirira bo n’abasajja baabwe n’abagamba nti, “Temutya bakungu Bakaludaaya, naye mutereere mu nsi muweereze kabaka w’e Babulooni kale ebintu byonna binaabagendera bulungi.”

25 Naye mu mwezi ogw’omusanvu, Isimayiri mutabani wa Nesaniya, muzzukulu wa Erisaama ow’olulyo olulangira n’ajja n’abasajja kkumi, n’alumba Gedaliya era n’amutta, awamu n’Abayudaaya; n’Abakaludaaya abaali awamu naye e Mizupa nabo n’abatta. 26 (P)Awo abantu bonna okuviira ddala ku wawansi okutuukira ddala ku w’eddaala erya waggulu, n’abamaggye abakulu bonna, ne baddukira e Misiri, nga batidde Abakaludaaya.

Yekoyakini Ateebwa

27 Awo Yekoyakini kabaka wa Yuda nga yakamala emyaka amakumi asatu mu musanvu mu buwaŋŋanguse mu busibe, nga Evirumerodaki kyajje afuuke kabaka w’e Babulooni, Evirumerodaki n’ata Yekoyakini kabaka wa Yuda okuva mu kkomera ku lunaku olw’amakumi abiri mu omusanvu mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri. 28 (Q)N’ayogera naye ebigambo ebyekisa, n’amuwa n’ekitiibwa ekya waggulu okusinga ne bakabaka abalala abaali awamu naye mu buwaŋŋanguse mu busibe e Babulooni. 29 (R)Awo Yekoyakini n’aggyamu ebyambalo bye eby’ekkomera n’aliiranga wamu ne kabaka w’e Babulooni ku mmeeza ya kabaka ennaku zonna ez’obulamu bwe. 30 (S)Kabaka n’awanga Yekoyakini omugabo ogwa buli lunaku ennaku zonna ez’obulamu bwe.

25 So in the ninth(A) year of Zedekiah’s reign, on the tenth day of the tenth month, Nebuchadnezzar(B) king of Babylon marched against Jerusalem with his whole army. He encamped outside the city and built siege works(C) all around it. The city was kept under siege until the eleventh year of King Zedekiah.

By the ninth day of the fourth[a] month the famine(D) in the city had become so severe that there was no food for the people to eat. Then the city wall was broken through,(E) and the whole army fled at night through the gate between the two walls near the king’s garden, though the Babylonians[b] were surrounding(F) the city. They fled toward the Arabah,[c] but the Babylonian[d] army pursued the king and overtook him in the plains of Jericho. All his soldiers were separated from him and scattered,(G) and he was captured.(H)

He was taken to the king of Babylon at Riblah,(I) where sentence was pronounced on him. They killed the sons of Zedekiah before his eyes. Then they put out his eyes, bound him with bronze shackles and took him to Babylon.(J)

On the seventh day of the fifth month, in the nineteenth year of Nebuchadnezzar king of Babylon, Nebuzaradan commander of the imperial guard, an official of the king of Babylon, came to Jerusalem. He set fire(K) to the temple of the Lord, the royal palace and all the houses of Jerusalem. Every important building he burned down.(L) 10 The whole Babylonian army under the commander of the imperial guard broke down the walls(M) around Jerusalem. 11 Nebuzaradan the commander of the guard carried into exile(N) the people who remained in the city, along with the rest of the populace and those who had deserted to the king of Babylon.(O) 12 But the commander left behind some of the poorest people(P) of the land to work the vineyards and fields.

13 The Babylonians broke(Q) up the bronze pillars, the movable stands and the bronze Sea that were at the temple of the Lord and they carried the bronze to Babylon. 14 They also took away the pots, shovels, wick trimmers, dishes(R) and all the bronze articles(S) used in the temple service. 15 The commander of the imperial guard took away the censers and sprinkling bowls—all that were made of pure gold or silver.(T)

16 The bronze from the two pillars, the Sea and the movable stands, which Solomon had made for the temple of the Lord, was more than could be weighed. 17 Each pillar(U) was eighteen cubits[e] high. The bronze capital on top of one pillar was three cubits[f] high and was decorated with a network and pomegranates of bronze all around. The other pillar, with its network, was similar.

18 The commander of the guard took as prisoners Seraiah(V) the chief priest, Zephaniah(W) the priest next in rank and the three doorkeepers.(X) 19 Of those still in the city, he took the officer in charge of the fighting men, and five royal advisers. He also took the secretary who was chief officer in charge of conscripting the people of the land and sixty of the conscripts who were found in the city. 20 Nebuzaradan the commander took them all and brought them to the king of Babylon at Riblah. 21 There at Riblah,(Y) in the land of Hamath, the king had them executed.(Z)

So Judah went into captivity,(AA) away from her land.(AB)

22 Nebuchadnezzar king of Babylon appointed Gedaliah(AC) son of Ahikam,(AD) the son of Shaphan, to be over the people he had left behind in Judah. 23 When all the army officers and their men heard that the king of Babylon had appointed Gedaliah as governor, they came to Gedaliah at Mizpah—Ishmael son of Nethaniah, Johanan son of Kareah, Seraiah son of Tanhumeth the Netophathite, Jaazaniah the son of the Maakathite, and their men. 24 Gedaliah took an oath to reassure them and their men. “Do not be afraid of the Babylonian officials,” he said. “Settle down in the land and serve the king of Babylon, and it will go well with you.”

25 In the seventh month, however, Ishmael son of Nethaniah, the son of Elishama, who was of royal blood, came with ten men and assassinated(AE) Gedaliah and also the men of Judah and the Babylonians who were with him at Mizpah.(AF) 26 At this, all the people from the least to the greatest, together with the army officers, fled to Egypt(AG) for fear of the Babylonians.

Jehoiachin Released(AH)

27 In the thirty-seventh year of the exile of Jehoiachin king of Judah, in the year Awel-Marduk became king of Babylon, he released Jehoiachin(AI) king of Judah from prison. He did this on the twenty-seventh day of the twelfth month. 28 He spoke kindly(AJ) to him and gave him a seat of honor(AK) higher than those of the other kings who were with him in Babylon. 29 So Jehoiachin put aside his prison clothes and for the rest of his life ate regularly at the king’s table.(AL) 30 Day by day the king gave Jehoiachin a regular allowance as long as he lived.(AM)

Footnotes

  1. 2 Kings 25:3 Probable reading of the original Hebrew text (see Jer. 52:6); Masoretic Text does not have fourth.
  2. 2 Kings 25:4 Or Chaldeans; also in verses 13, 25 and 26
  3. 2 Kings 25:4 Or the Jordan Valley
  4. 2 Kings 25:5 Or Chaldean; also in verses 10 and 24
  5. 2 Kings 25:17 That is, about 27 feet or about 8.1 meters
  6. 2 Kings 25:17 That is, about 4 1/2 feet or about 1.4 meters